Amawulire

Zaala bamugobye mu byalo

Ali Mivule

May 5th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Ab’olukiiko olutwala okuzanya zaala mu ggwanga balabudde nti teri kutwala byuma bya zaala mu byalo. Akulira olukiiko luno  Edgar Agaba agamba zaala alina kubeera mu bibuga mwokka bannakyalo babaleke. Ono kati agamba okutandika n’olwaleero baakuggala buzineesi za zaala zonna ezimenya amateeka. Agaba […]

Ab’ekyambogo babanja

Ali Mivule

May 5th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Abasomesa ku yunivasite ye Kyambogo batiisizza okwekalakaasa oluvanyuma lw’okumala emyezi 4 nga tebakomba ku musaala. Abasomesa bano yunivasite bajiwadde obutasukka lwaleero nga ssente zaabwe ziri ku akawunta oba sikkyo bediime. Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa ku ttendekero lino Dr. Grace Lubaale agamba bakooye […]

Ba ssedduvutu babakutte

Ali Mivule

May 4th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda Poliisi ye Jinja eriko abantu 2 bekutte ku bigambibwa nti baasobezza ku bawala abatanetuuka. Abakwate bategerekese nga  Waiswa Ivan myaka 19 omutuuze wa zooni ye Mafubira  ne  Fred Kyalukundo 18 omutuuze ku kyalo – Kyamagwa . Atwala poliisi ye Mafubira  James Muwanga […]

Eyafudde nga azaala akwasizza abasawo

Ali Mivule

May 4th, 2017

No comments

Bya Alex Tumuhimbise Abasawo 2 okuva ku ddwaliro lya  Kasambya Health center III mu disitulikiti ye  Kakumiro bakwatiddwa lwabigambibw anti baalagajalidde omukyala n’azalira ku kkubo n’afa. Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikulembeddwamu aduumira poliisi ye Kakumiro Hassan Mugerwa nga era bano kuliko akulira eddwaliro lino wamu […]

Amasanyalaze gabizadde

Ali Mivule

May 4th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Poliisi eriko abasuubuzi boku Nasser Road  4 bekutte lwekwekalakaasa olw’ebbula ly’amasanyalaze. Abasuubuzi bano bakedde kwekumamu gutaaka nabakuma omuliro mu Makati g’oluguudo nga bagamba tebakola okuva olunaku lw’eggulo olw’ebbula ly’amasanyalaze . Kino kivuddeko ebyentambula okusanyalala nga tewali mmotoka esala mu kitundu kino ekiwalirizza […]

Abalina ebizimbe biganyegenya bakiguddeko

Ali Mivule

May 4th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Abamu ku Bananyini mayumba agali mumbeera embi mu Kampala bayitiddwa kkooti ya City Hall  babeeko nebyebajinyonyola. Bano nga bawerera ddala bataano bayitiddwa omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende, era ng’abalala bawereddwa ebibaluwa bi bakutunmye. Bano bakuvunanibbwa emisango egy’okubeera n’ebizimbe ebiri mu mbeera […]

Abajaasi Babasibye Emyaka 15 Lwa Bulumbaganyi Obwalie Mbuya

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Kooti yamagye etuula e Makindye, abajaasi be gye lye gwanga erya UPDF babiri ebasibye buli omu emyaka 15 olwokwekobaana mu bulumbaganyi  obwakolebwa ku nkambi yamagye etuula e Mbuya  obwaliwo ngennaku zomwezi 4th  March mu mwaka gwa 2013. Abalamuzi ba kooti eno 7 […]

Gavumenti Etekateeka Kusisinkananga Bannamwulire buli Mwezi

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Government egamba erina entekateeka okuwayangamu ne bannamawulire owa buli mwezi okumanya ebigenda maaso mu bitongole ebyenjawulo. Minista webyamawulire nebyekikugu, Frank Tumwebaze abadde ayogerera ku mukolo gwe ddembe lyabannamwulire nalyoka alangirira entekateeka ngeno. Ategezezza nti entekateeka eno egenda kutandika okukola mu mwaka gwebyensimbi […]

Gavumenti Esomozeddwa ku Bannamawulire

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Nga bannamawulire bagasse awamu okukuza olunnaku lwe ddembe lyabwe, gavumenti esabiddwa okuvaayo okubaterawo embeera ebasobozesa okukola obulungi emirimu. Ssenkulu wekibiina kya Citizen’s Coalition for Electoral Democracy in Uganda ekitakanaira obukulembeze obulungi, Cryspy Kaheru ategezezza nti okutiisatiisa nokutulugunya bannamwulire bilabiddwako wabulanga ebitongole bya […]

Abantu 4 Okuli Nabaana be Ssomero Baafiridde mu Nnyanja Alebert

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Abantu 4 okuli nabaana be ssomero abekyomusanvu  ku ssomero lya Katalemwa P/S mu ggombolooa ye Bwikara mu district ye Kagadi basikrikidde mu nnyanja Albert eryato lyebabaddemu bwerikubiddwa envubu. Omuddumizi wa poliisi mu district ye Kagadi Peter Ongwara, akaksizza enjega eno. Akabenje kano […]