Amawulire

Mugemese abaana

Ali Mivule

April 27th, 2017

No comments

Bannayuganda bonna basabiddwa okufuba okulaba nga bagemebwa endwadde ez’enjawulo ezewalika nga omuntu agemeddwa. Omulanga guno gukubiddwa minisita w’ebyobulamu Dr.Jane Ruth Achieng mu kuggulawo wiiki y’okugema ey’omulundi ogw’omusanvu. Okugema kuno kwatongozeddwa olunaku lw’eggulo ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna nga kino kigendereddwamu okukendeeza ku baana abafa nga […]

Nabakooba awolerezza eyali mukamawe Kayihura

Ali Mivule

April 26th, 2017

No comments

Wabadewo katemba mu kakiiko ka parliament akakola ku nsonga z’ebyokwerinda , nga kino kidiridde ssentebe w’akakiiko kano, era omubaka we Mityana Judith Nabakooba  okugezaako okugaana  omubaka Muwanga kivumbi  okubaako by’asoya ssabapolice wa uganda. Kivumbi okutuuka mu nkayaana zino kidiridde okukalira mu ssabapolice wa uganda nga […]

Apollo Kantinti bamugobye mu palamenti

Ali Mivule

April 26th, 2017

No comments

  Bya Ruth Andera Munna FDC Apollo Kantinti takyali mubaka wa palamenti. Kkooti ejulirwamu emugobye mu kifo ky’omubaka wa Kyadondo East lwakujeemera mateeka gabyakulonda. Abalamuzi abasatu okuli  Richard Buteera, Cheborion Balishaki ne  Paul Mugamba bonna bakkiriziganyizza n’ekyasalibwawo kkooti enkulu nti waliwo n’obululu okuva mu bifo […]

Mujje eby’obufuzi mu kugaba emmere-Gavumenti

Ali Mivule

April 26th, 2017

No comments

  Minisita w’ebigwa tebiraze n’ababundabunda Eng Hillary Onek avumiridde abateeka eby’obufuzi mu kugabira abantu abafa enjala emmere. Kino kiddiridde minisitule eno okuteekebwa ku ninga ebitundu ebimu nga abaayo bagamba nti babasosola bwekituuka ku kugaba emmere. Wabula ye minisita  Onek alumiriza abakulembeze bazidisitulikiti abamu nti emmere […]

KCCA esibye abatembeeyi abalala

Ali Mivule

April 26th, 2017

No comments

Abatembeeyi  b’emmere  abawerako  bavunaniddwa mu mbuga z’amateeka , era nebaweebwa ebibonerezo. Bano amakumi 20 nga bakulembeddwamu Babirye Hasifah basimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende nebakiriza emisango gy’okutembeya nga tebafunye Lukusa okuva mu kitongole kya KCCA. Amangu  ddala […]

Obusanyi bukyalemye

Ali Mivule

April 26th, 2017

No comments

Minisitule y’ebyobulimi eri mu kusattira olw’obusanyi obufuukidde ddala ekizibu nga bwatuuse n’okudda ku matooke emmere esinga okuliibwa bannayuganda okuva ku kasooli n’ebikajjo bwebubadde bulya kumpi  kwagala kubimala ku misiri. Mukiseera kino abakungu ba minisitule batuula bufofofo nga era webwazibidde  nga batuuzizza enkiiko ez’enjawulo okusalira ekizibu […]

Owa Equaatorial Guinea ajja

Ali Mivule

April 26th, 2017

No comments

  Omukulembeze w’eggwanga lya Equatorial Guinea Obiang Nguema asuubirwa mu ggwanga olwaleero okwogerageranyamu ne munne owakuno Yoweri Museveni. Abakungu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’amawanga gebweru  batutegezezza nti abakulembeze ababiri bakwogera ku nsonga z’amafuta n’amagye. Ku bugenyi bwe obw’ennaku 2 pulezidenti Obiang era wakwogerako […]

Minisita Kabfunzaki byongedde okumwononekera

Ali Mivule

April 25th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Nga kyajje akwatibwe ku musango gw’okujja enguzi ey’obukadde 5 ku Munammad  Muhammed Hamid owa kampuni ya AYA , minisita omubeezi ow’abakozi byongedde okumwononekera. Ekitebe ky’eggwanga lya South Korea kuno  kiwandikidde omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule y’ensonga z’ebweru  w’eggwanga banonyeerze ku neyisa ya minisita […]

Nambooze Tuviire mu kibiina -Mao

Ali Mivule

April 25th, 2017

No comments

Bya Damali Mukyaye Ab’ekibiina kya DP basabye amyuka ssentebewaabwe mu Buganda Betty Nambooze n’ekiwayi kye okugondera amateeka g’ekibiina oba ssikyo banonye ekibanja ewalala.  Nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero ku kitebe ky’ekibiina ku City  House, ssenkaggale w’ekibiina kino Nobert Mao ategezezza nga Nambooze ne banne baabadde […]

Kamoga ne banne basazeewo okusirika

Ali Mivule

April 25th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Abantu 14 abavunaanibwa okutta abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga basazeewo okusirika ekisera kyonna nga kkooti ewulira emisango gyabwe esinziira ku ku bujulizi bwokka obwaleetebwa okusala omusango. Bano nga bakulembeddwamu akulira abatabuliiki Amir Ummah Sheikh Yunus Kamoga olwaleero balabiseeko mu kkooti okutandika okwewozaako wabula […]