Amawulire

Nabakooba awolerezza eyali mukamawe Kayihura

Ali Mivule

April 26th, 2017

No comments

Wabadewo katemba mu kakiiko ka parliament akakola ku nsonga z’ebyokwerinda , nga kino kidiridde ssentebe w’akakiiko kano, era omubaka we Mityana Judith Nabakooba  okugezaako okugaana  omubaka Muwanga kivumbi  okubaako by’asoya ssabapolice wa uganda.

Kivumbi okutuuka mu nkayaana zino kidiridde okukalira mu ssabapolice wa uganda nga agamba nti abantu beyakwata ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Police Andrew Felix Kaweesi,beebo abaali mu komera Kaweesi weyatirwa,kale nga kuno kubuzabuza banna-uganda

Wabula mukwanukula yye Ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura asabye ababaka ba parliament okwesiga poliisi ku by’okunonyereza abatta Kaweesi.

Kayihura ategezezza nti balina webatuuse  mu kunonyeraza, kale betaaga obwesigwa bwabannayuganda bonna ku nsonga eno.