Amawulire

Okubala Bannauganda kwa mwaka gujja

Okubala Bannauganda kwa mwaka gujja

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kitegeezezza nti okubala abantu mu ggwanga kugenda okutandika nga 10 May 2024. Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Dr Chris Mukiza, akulira ekitongole kino, agambye nti omulimo guno mu ggwanga lyonna […]

Abavuganya Gavt bavudde kunsonga zábakadde

Abavuganya Gavt bavudde kunsonga zábakadde

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, Abali ku ludda oluvuganya gavt mu Palamenti baagala gavumenti eyongere ku muwendo gw’abakadde abaganyulwa mu nsimbi ezibaweebwa buli mwezi ate ekendeeza ne ku myaka kwebalina okuzifunira. Ensimbi zino zimu ku nteekateeka ya Social Protection Programme (ESP) eyassibwa mu nkola Gavumenti okuyita mu […]

Museveni asanyukidde ekya CAF okukkiriza East Africa okutegeka empaka za AFCON

Museveni asanyukidde ekya CAF okukkiriza East Africa okutegeka empaka za AFCON

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, Pulezidenti Museveni asanyukidde amawulire g’ekibiina ekitwala omuzannyo gwomupiira mu Africa ekya Confederation of African Football (CAF) okuwa amawanga 3 aga East Africa okuli Kenya, Tanzania ne Uganda omukisa okutegeka empaka za AFCON eginabaawo mu 2027, n’agamba nti kabonero akalaga omwoyo gwóbwa sseruganda. […]

Zaake yagobebwa mu bukyamu kubwa Kamisona

Zaake yagobebwa mu bukyamu kubwa Kamisona

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah ne Juliet Nalwooga, Palamenti ekkirizza okufuna ensala ekwata ku mubaka wa munisipaali y’e Mityana Francis Zaake okuggyibwa kubwa kamisona bwa Palamenti. Kkooti ya Ssemateeka olwaleero erangiridde nti omubaka Zaake yagobwa ku bwa kaminsona mungeri emenya amateeka kuba sipiika wa Palamenti teyayolesa bwenkanya. […]

Ekitongole ekiramuzi kisabiddwa okuteeka munkola enfuga ey’amateeka

Ekitongole ekiramuzi kisabiddwa okuteeka munkola enfuga ey’amateeka

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,  PULEZIDENTI w’ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society alajaanidde ekitongole ekiramuzi okutumbula obuvunaanyizibwa n’enfuga y’amateeka ng’engeri y’okussa ekitiibwa mu mugenzi eyasooka okuba ssaabalamuzi weggwanga Benedicto Kiwanuka. Kiwanuka yatemulwa lwa kwagala n’okussa ekitiibwa mu nfuga y’amateeka, eddembe ly’obuntu n’obwenkanya. Yakwatibwa n’effujjo basajja beyaliko […]

Amuriat ne Nandala basunsuddwa

Amuriat ne Nandala basunsuddwa

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye, Akakiiko k’ebyokulonda ak’oludda oluvuganya gavumenti aka Forum for Democratic Change (FDC) akawungeezi ka leero kasunsudde senkagale wekibiina Patrick Amuriat ku kifo kye kimu. Era mu balala abasunsuddwa ye Jack Sabiiti eyegwanyiza ekifo kya ssentebe w’ekibiina ate Ssaabawandiisi Nandala Mafabi avuganya ku kifo […]

Minisita alabudde abeefuula abataputa bólulimi lwa bakiggala

Minisita alabudde abeefuula abataputa bólulimi lwa bakiggala

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2023

No comments

Bya Barbara Anyait, Minisita w’ensonga z’abalema mu minisitule y’ekikula ky’abantu, Grace Hellen Asamo alabudde abantu abeefudde abakugu mu lulimi lwa bakiggala ng’agamba nti babuzaabuza abantu n’ensonga z’okuwulira. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala ng’eggwanga lijjukira wiiki y’okumanyisa abantu bakiggala mu nsi yonna, Asamo agambye nti […]

Abakiise ba FDC bayimiriza Amuriat ne bamusikiza Lukwago

Abakiise ba FDC bayimiriza Amuriat ne bamusikiza Lukwago

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abakiise abeetabye mu tabamiruka wekibiina kya FDC ekiwayi kye Katonga banabidde mu maaso abadde senkagale wekibiina Patrick Oboi Amuriat, rne bamugoba ne bamusikiza Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago. Abakiise era bagobye abadde ssaabawandiisi we kibiina, Nathan Nandala Mafabi ne bamusikiza abadde […]

Abamu ku bakulembeze ba FDC bagaaniddwa okuyingira e Katonda

Abamu ku bakulembeze ba FDC bagaaniddwa okuyingira e Katonda

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, Abamu ku bakulembeze b’ekibiina kya FDC abékiwayi ky’e Katonga poliisi ebalemeseza okuyingira okwetaba mu Tabamiruka wa FDC eyayitibwa Ssentebe wekibiina Wasswa Biriggwa agenda mu maaso ku ofiisi ya Katonga Road. Omu ntu ku bano y’eyali omubaka wa Palamenti e Nakawa Michael Kabaziguruka […]

Abayizi béKyambogo baddizibwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira

Abayizi béKyambogo baddizibwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira

Ivan Ssenabulya

September 18th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah, Abayizi bana aba Yunivasite y’e Kyambogo abaakwatibwa wiiki ewedde ku luguudo lwa Parliamentary Avenue nga bawakanya eky’okusalawo kwa Bbanka ezimu okuvujirira pulojecti yokuzimba omuddumu gwa mafuta oguva e Uganda okudda e Tanzania baddizibwawo mu kkomera e Luzira. Omulamuzi wa kkooti ya Buganda […]