Amawulire

Omuntu omu afiiridde mu muliro okugutte ekizimbe kya City House

Omuntu omu afiiridde mu muliro okugutte ekizimbe kya City House

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Poliisi ekakasizza nga bwewaliwo omuntu omu afiiridde mu muliro ogukutte ekizimbe ki City House mu Kampala enkya ya leero, omusirikidde ebintu ebibalirirwa obukadde bwénsimbi.

Amyuka ayogerera Poliisi mu Kampala n’emiliraano Luke Oweyesigirie, atubuulidde nti omulambo guno gwa musajja atanategerekeka bimwogerako wabula nga gutwaliddwa mu dwaliro ekkulu e Mulago okwongera okugwekebejja.

Oweyesigire era agamba nti Poliisi enzinya mwooto bwesobodde okuzikiriziza omuliro guno wabula ng’esibuko yagwo tennategerekeka.

Ate ye akulira eggombolola ya Kampala Central Salim Uhuru, azzeemu okujjukiza bannyini bizimbe okufuba okuteeka ebyuma ebizikiriza omuliro ku bizimbe byabwe, okwetangira omuliro ogubalukawo nga tegulaze.