Amawulire
Minisitule eyongedde ku bifo omugemerwa e Mukono ne Wakiso
Bya Ivan Ssenabulya Minisitule yebyobulamu eriko ebifo ebiralal, byetaddewo mu disitulikiti ye Mukono ne Wakiso, abantu webayinza okwanguyirwa okugemebwa ssenyiga omukambwe. Ebifo ebiwera 35 byebitereddwawo e Wakiso okuli; Bulondo Health Centre 111, Buwambo HC IV, Community Health Plan Uganda, Saidina Abubaker Islamic Hospital, Kisubu Hospital […]
Uganda efunye abalwadde ba COVID-19 abappya 105
Bya Ritah Kemigisa Minisitule yebyobulamu ekakaksizza abalwadde ba ssenyiga omukambwe, abapya 105 nga guno gwemuwendo ogukyasinze okubeera waggulu okuva omuyaga ogwokubiri ogwa COVID-19 gulangirirwa. Emiwendo gino gyavudde mu kubera okwakolebwa nga 13 nenkeera waalwo nga 14 May 2021. Bano bavudde mu bitundu okuli disitulikiti ye […]
Amawanga 11 gaweddemu omusujja gwensiri
Bya Ivan Ssenabulya Ekitongole kyebyobulamu munsi yonna, World Health Organization baliko amawanga 11 gebalanagirirdde nti batuuse ku buwnaguzi, nga balinnye omusujja gwensiri ku nfeete. WHO yalangiridde Algeria, Argentina, Armenia, El Salvador, Kyrgyzstan, Morocco, Paraguay, Sri Lanka, Turkmenistan, United Arab Emirates ne Uzbekistan. Amawanga gano bagambye […]
Gavumenti ekiriza ebitongole okuleeta eddagale erigema COVID-19
Bya Ritah Kemigisa Minisitule yebyobulamu etegezezza nti egenda kutandika okukiriza ebitongole abayingiza mu gwanga, eddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19 okugema abakozi baabwe. Bweyabadde anyonyola ku ntekateeka yokugema bwetamabula, minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng yagambye nti okusalwo bwebati kidirirdde okusaba okwenjawulo okubadde kujja gyebali ku […]
Obulwaliro 73 bugaddwa e Masaka
Bya Malikh Fahad Ekitongole kye ddagala mu gwanga, National Drug Authority baliko obulwaliro 73 bwebagadde e Masaka nga babadde bakola nga tebalina layisinsi. Kino kidirirdde ekikwekweto ekikoleddwa mu disitulikiti ezikola obwagagavu bwe Msaaka okubadde Kalungu, Masaka, Sembabule, Bukomansimbi ne Kyotera. Ku bulwaliro obutonotono 207, bwebalambudde […]
Bannakayewa banenyezza gavumenti ku by’okusala embalirira y’ebyobulamu
Bya Julier Nalwoga Abalwanirizi be ddembe lyobuntu, nga bali wamu nabasawo wansi wkeibiina Human Rights Awareness and promotion Forum bambalidde gavumenti ku ntekateeka gyerina, okusala ku mbalirirra yebyobulamu eyomwaka gwebyenfuna 2021/22. Mu mbalirirra etanabeera yankomeredde, giyite Budget Framework Paper, embalirirra ya minisitule yebyobulamu baakujisalako obuwumbi […]
Ssente z’eddagala teziriiwo
Bya Ndhaye Moses Minisitule yebyobulamu egamba nti wadde olukiiko lwaba minisita lwayisizza ekitees, okugula ddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19, bakyalina amakubo agenjawulo gebalina okuyitamu okufuna ssente ezetagisa obukadde $ 164 okusubola okutuusa eddagala mu gwanga. Wiiki ewedde gavumenti yalangiridde nti eddagala erigema COVID-19 lyakutuuka mu […]
Minisitule ereese ambuleensi z’okumazzi
Bya Ritah Kemigisa Gavumenti eriko ambulance zokumazzi ezomulembe zeyanjudde, ezireteddwa okwongera okulongoosa ebyobujanjabi ku mazzi. Zino zigenda kutekebwa mu district zomu bizinga okuli Kalangala ne Buvuma. Okusinziira ku muwandiisi owenkalakkalira Dr. Diana Atwine, ambulance zino zakuyamba ba nakabutuzi ababadde bakonkomalira mu bzinga e Kalangala ne […]
Omusujja gw’ensiri gweyongedde
Bya Moses Ndaye, Minisitule ye byobulamu egamba nti omusujja gwensiri gweyongedde nyo mu bitundu okuli Karamojja, West –Nile ne Busoga Abantu abasoba mu kasanvu bebafa buli mwaka mu ggwanga lino olwomusujja gw’ensiri. Akwasaganya ebyomusujja gwensiri mu minisitule eno Dr. Jimmy Opigo, agamba nti e Karamoja […]
RDC alabudde amadiini agawakanya okugema
Bya Ivan Ssenabulya Buli kimu kijiddwako engalo, okutandika okugema abaana okwekikungo, ebirwadde okuli polio, Olukusense ne Rubella. Mu ntekateeka eno gavumenti erubiridde abaana obukadde 18 nga 43% ku bantu abali mu gwanga, okuva olunnaku lwenkya nga 16 okutukira ddala ku lunnaku lwa Sunda ngennakuz omwezi […]