Amawulire

Gavumenti ekiriza ebitongole okuleeta eddagale erigema COVID-19

Gavumenti ekiriza ebitongole okuleeta eddagale erigema COVID-19

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisitule yebyobulamu etegezezza nti egenda kutandika okukiriza ebitongole abayingiza mu gwanga, eddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19 okugema abakozi baabwe.

Bweyabadde anyonyola ku ntekateeka yokugema bwetamabula, minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng yagambye nti okusalwo bwebati kidirirdde okusaba okwenjawulo okubadde kujja gyebali ku nsonga eno.

Wabula minisita agambye nti eddagala erigenda okuyingira mu gwanga, lijja kuba lyakugema abakozi munda mu makampuni oba ebitongole, nga terijja kukirizibwa kutundibwa.

Eri abagala okuleeta eddagala mu gwanga okuva e Bunayira, minisita agambye nti batekeddwa okuwandikira akulira ebyobujanjabi obusokerwako mu minisitule.

Eddagala litekeddwa okuba nga lyakakasibwa ekitongole kyebyobulamu ekya World Health Organization ne National drug Authority, ekitongole kye ddagala mu gwanga.

Mu bbaluwa esaba batekeddwa okulaga omuwendo gwe ddagala lyebaleeta nabakozi bebagenda pokugema.

Eddagala lino era lyakuyita mu kitongole kyeterekero lye ddagala ekya National Medical stores okusobola okulikuuma obulungi.

Mungeri yeemu, minisitule yebyobulamu eri mu ntekateeka okuwa olukusa amalwaliro gobwannanyini okutandika okugema.

Kino kibikuddwa minisita webyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng ngagambye nti kino kyakukolebwa ssinga banaaba bamaze okutuuka ku kukaanya.

Mu bibalo byawadde, agambye ntiabanatu emitwalo 3 mu 2,526 bebakagemebwa.

Uganda yakafuna eddagala erigema emitwalo 96 mu 4,000 erya AstraZeneca wansi wentekateeka y’obuyambi eya COVAX.