Ebyobulamu
Obujanjabi bwa Nalubiri buzze e Mukono
Bya Ivan Ssenabulya Obwakabaka bwa Buganda, ministry yebyobulamu nobukulembeze bwa munisipaali ye Mukono bategese okukebera ekirwadde kya sickle cell okwobwerere, wakati mu kwetegekera amazalibwa ga Kabaka agomwaka guno. Omukwanaganya wentekateeka eno Evelyn Mwesigwa era atugambye nti, bagenda kugulawo waadi, ejanjaba ekirwadde kino ku Mukono Health […]
Abe Bukomansimbi tebalina mazzi
Bya Prosy Kisakye Abatuuze mu district ye Bukomansimbi balaajana lwa bbula lyamazzi, nga kati enzizi zonna zaakalidde. Eno amazzi kati gebalina gabidiba era makyafu, ngmagombolola agasinze okukosebwa kuliko Kitanda ne Bigasa. Ssentebe wa disitulikiti eno Haji Muhamad Kateregga alambudde enzizzi, abatuuze kwebabadde basena amazzi nga […]
Abamatendekero gabasawo b’emulugunya ku musolo
Bya Ndaye Moses Abantu abalina amatendekero gabasawo agobwananyini, basabye gavumenti okukendeeza ku musolo gwebajjako. Okusinziira ku akulira ettendekero lya Mityana School of nursing and Midwifery John Kintu, omusolo omungi gubakosa, obugajibwakao neku bikozesebwa mu makenejjezo nebiralala. Kintu okwogera bino abadde ayogerera mu bayizi okuva mu […]
Abatunda eddagala, ebyokulya n’ebizgo ebijingirire bubakeredde
Bya Ritah Kemigisa Ekitongole kye ddagala kirayaidde nti, ababadde bayingiza eddagala erijingirire nebikozesebwa mu malwaliro ebitali ku mutindo, bubakeredde. Bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokutema evvuniike eryuomulimu guno ogugenda okumalwo obuwumbi 31, ssentebbe wekitongole kya National Drug Authority Dr Medard Bitekyerezo, agambye nti mu laboratory eno […]
Kattikiro akubirizza Obuganda ku bulamu bwabwe
Bya Shamim Nateebwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okugemesanga abaana endwadde, okubaliisa obulungi, n’okubambaza engatto obutakwatibwa endwadde zi namutta. Ono era asabye abantu ba Kabaka okufaayo ku bulamu bwabwe nga bajjumbira okwekebezanga endwadde, kubanga olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko lujja kubeera lwangu […]
Absaawo b’ensigo tebamala
Bya Shamim Nateebwa Uganda ekyalina ekizibu kye bbula lya lyabasawo abajanjaba ensigo. Okusinziira ku akulira obujanjabi bwensigo ku ddwaliro lya St. Francis Hospital e Nsambya Dr Joseph Ogavu Gyagenda, egwanga lirina abasawo 8 bokka, nga batono ku balwadde abali mu bukadde 5. Bino byebikulembeddemu olunnaku […]
Enyama namata ebimu biirmu edagala
Bya Nobert Atukunda Abasawo bebisolo mu kibiina kya Uganda Veterinary Association balabudde ku mata ne nnyama byebalya ensangi zino, nti mwandibaamu ebiragalala ebisusse, atnega byabulabe eri obulamu bwabantu. Presidenti wekibiina kino Sylvia Baluka, agamba nti abalunzi abamu batunda ebisolo nebigenda ku katale, okulibwa atenga bibadde […]
Enkuba y’akweyongera n’okujjiramu ebirwadde
Bya Damalie Mukhaye ne Ndaye Moses Abakugu mu mbeera yobudde balabudde nti, omusujja gwensiri gugenda kweyongera, wakati mu namutikwa wenkuba atandise okufudemba. Bino webijidde ngekitongile kyentebereza yobudde, Uganda National Metrological Authority kyalagudde enkuba okuviira ddala mu March okutuuka mu May. Akulira ekitongole kino Festus Luboyera, […]
Okusomesa ku Condom kwetagisa
Bya Ivan Ssenabulya Abakugu mu byobulamu balaze obwetaavu bwokwongera okusomesa abantu ku nkozesa, yobupiira bu kalimpita wa entuufu, okulwanyisa ebirwadde byobukaba. Omulanga gukubiddwa nga Uganda yegasse ku nsi okukuza, olunnaku lwa International Condom Day, olukuzibwa buli 13th mu kwetegekera okukuza olunaku lwabagalana. Dr Vincent Karuhanga, […]
Abavubuka baddukidde mu palamenti
Bya Shamim Nateebwa Waliwo ekibinja kyabavubuka nga bakulembeddwamu knsala okuva e Kabale Catherine Kyomugisha abaddukidde mu kakiiko ka palamenti akebyobulamu, nga babanja bujanjabi, bwabwe ngabavubuka. Bano bagala basomesebwenga ebyekikula, kubanga obutabimanya, bagamba nti kivuddeko abaana okubukanga nembuto nga tebanetuuka. Ekiwandiiko mwebatadde okwemulugunya kwabwe, bakuwadde ssentebbe […]