Amawulire

Ssente z’eddagala teziriiwo

Ssente z’eddagala teziriiwo

Ivan Ssenabulya

January 31st, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Minisitule yebyobulamu egamba nti wadde olukiiko lwaba minisita lwayisizza ekitees, okugula ddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19, bakyalina amakubo agenjawulo gebalina okuyitamu okufuna ssente ezetagisa obukadde $ 164 okusubola okutuusa eddagala mu gwanga.

Wiiki ewedde gavumenti yalangiridde nti eddagala erigema COVID-19 lyakutuuka mu gwanga wakati wa April ne May omwaka guno, ngabantu obukadde 9 bebalubiridde okugema mu kusooka.

Mu kusooka bakugema abantu abali mu kabi okukwatibwa obulwadde okuli abakadde nabasawo.

Wabula omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yebyobulamu Dr. Diana Atwine, agamba nti emitendera mingi ejirina okuyitwamu.

Okuva COVID-19 lweyakaksibwa mu gwanga mu March womwaka oguwedde 2020, abantu emitwalo 3 mu 9,314 bebalwadde atenga omutwalo 1 mu 4,114 bebawonye.

Bbo abantu 318 bebakafa COVID-19 okuva mu March womwaka oguwedde.