Amawulire

Minisitule eyongedde ku bifo omugemerwa e Mukono ne Wakiso

Minisitule eyongedde ku bifo omugemerwa e Mukono ne Wakiso

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Minisitule yebyobulamu eriko ebifo ebiralal, byetaddewo mu disitulikiti ye Mukono ne Wakiso, abantu webayinza okwanguyirwa okugemebwa ssenyiga omukambwe.

Ebifo ebiwera 35 byebitereddwawo e Wakiso okuli; Bulondo Health Centre 111, Buwambo HC IV, Community Health Plan Uganda, Saidina Abubaker Islamic Hospital, Kisubu Hospital nebirala.

Ate e Mukono, munisipali yesinze okutekebwamu ebifo ebingi; okuli Goma Health Centre 111, Mukono General Hospital, Mukono Muslim HC11, Seeta COU and St. Lwanga Charles nawalala.

Disitulikiti awamu erimu ebifo 34 abantu webagenda nebagemebwa.

Bino webijidde nga minisitule yebyobulamu, yafunye eddagala eddala doozi emitwalo 64 nokusoba eryekika kya Moderna, nga lyawereddwa Uganda ngobuyambi okuva mu gavumenti ya America.

Minisita webyobulamu yategezezza nga bwerigenda okukozesebwa ku bantu abatanagemebwa, abetaaga doozi esooka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *