Amawulire

Bannakayewa banenyezza gavumenti ku by’okusala embalirira y’ebyobulamu

Bannakayewa banenyezza gavumenti ku by’okusala embalirira y’ebyobulamu

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2021

No comments

Bya Julier Nalwoga

Abalwanirizi be ddembe lyobuntu, nga bali wamu nabasawo wansi wkeibiina Human Rights Awareness and promotion Forum bambalidde gavumenti ku ntekateeka gyerina, okusala ku mbalirirra yebyobulamu eyomwaka gwebyenfuna 2021/22.

Mu mbalirirra etanabeera yankomeredde, giyite Budget Framework Paper, embalirirra ya minisitule yebyobulamu baakujisalako obuwumbi 258, okuva ku bwesedde 2 nekitundu.

Moses Mulumba, nga yakulira ekitongole kya Center for Health, Human Rights and Development aambye nti kimalamu namaanyi okuba nti gavumenti teesa kusala ku mbalirirra, mu kiseera ngabasawo mu gwnaga bafa COVID-19, nebizbu ebiralala ebifumbekedde mu kitongole kyebyobulamu.

Miria Matembe nga ye mukwanaganya wemirimu mu kitongle kya Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda asabye gavumenti ya NRM nti bateeeke ku mwanjo ensonga yebyobulamu, bwebanaaba bakuytereeza ebiseera byabana-Uganda ebyobu maaso nga bwebogera.

Bino webijidde nga waliwo abasawo abafudde, gyebuvuddeko okwali Dr. Charles Kiggundu nbalala abafa ssenyig omkambwe olwegwanga obutabeera na Oxygyen.