Amawulire

Minisitule ereese ambuleensi z’okumazzi

Minisitule ereese ambuleensi z’okumazzi

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2020

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Gavumenti eriko ambulance zokumazzi ezomulembe zeyanjudde, ezireteddwa okwongera okulongoosa ebyobujanjabi ku mazzi.

Zino zigenda kutekebwa mu district zomu bizinga okuli Kalangala ne Buvuma.

Okusinziira ku muwandiisi owenkalakkalira Dr. Diana Atwine, ambulance zino zakuyamba ba nakabutuzi ababadde bakonkomalira mu bzinga e Kalangala ne Buvuma nebalemerrw nokutuuka mu malwaliro mu budde okusumulukuka.

Ambulance zino 2, zirimu ebyomu ebyomulembe okuli ebiyinza okuyamba okukwatirirrako abalwadde abayi okubatuusa mu malwaliro.

Dr Atwine agambye nti bataddewo ekifo abantu bweyinza okukuba amasimu okusaba obuyambi, ngekifo kino kyekigenda okuvunayizbwa ku kuziddukanya.