Amawulire

Poliisi ekutte agambibwa okuba omuyekera wa ADF

Poliisi ekutte agambibwa okuba omuyekera wa ADF

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Poliisi mu disitulikiti yé Jinja ekutte omusajja ategerekese nga Nyanzi mwezi David, abadde yefudde omulalu mu kibuga Jinja wabula nga kiteberezebwa okuba nti mutujju w’akabinja ka ADF.

Omwogezi wa police mu Kiira region, James Mubi atubulidde nti Poliisi okumukwata emusanze ku Iganga road ng’ayambadde ebigoye ebiddugala nga biyuliseyulise, nga bwagenda alonda kasasiro ku luguudo.

Kigambibwa nti Nyanzi abadde yakava e Congo, era nga mu kiseera kino akuumibwa ku kitebe kya police ekya CPS e Jinja.