Amawulire

Omutemu Ow’olulango asibiddwa emyaka 134 mu nkomyo

Omutemu Ow’olulango asibiddwa emyaka 134 mu nkomyo

Ivan Ssenabulya

December 13th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abadde yefudde kakensa mu kutemula abantu, asibiddwa emyaka egisoba mu 134.

Ono kikakasibwa nti yatta abantu 5 mu mwezi gumu amale agombwemu obwala mu mwaka gwa 2021

Musa Musasizi nga yaliko omwana wókuluguudo nóluvanyuma nafuuka omusuubuzi mu katale k’ewa Kiseeka era nga abadde Semaka ng’alina omukyala n’omwana abatuuze bé Mujomba zooni 6 e Nakulabye.

Obutemu Musasizi ebimanyiddwa yabutandika mu February wa 2021 bweyatta muganziwe Mackline Ahereza, olw’okumusaba ssente okutandikawo bizinensi.

Oluvannyuma omulambo gwe yaguzingako mu ssuuti-keesi, n’apangisa boda -boda n’agutwala mu zooni y’e Kitooro e Nateete gye yagula amafuta nagukumako paraffin omuliro.

Kassaga Abudl eyavuga omulambo gwa Ahereza, kkooti emulagidde okumala emyaka 4 mu kkomera e Luzira.

Oluvannyuma lw’okuttibwa kwa Ahereza, Musasizi eyali ow’emyaka 23 mu kiseera ekyo ate yafuna Violet Kansiime n’omwana we Abigail Nakitende ow’emyezi 3 okuva mu kifo kya ssenga we e Makerere nga yeefudde nti agenda kumuwasa n’okumulabirira oluvannyuma wabula ate naye yamutta nómwanawe.

Oluvannyuma emirambo gyabwe yagizinga mu ssuuka, n’agitwala okumpi ne poliisi y’e Nankulabye n’agikumako omuliro okukweka obujulizi.

Musasizi ayongedde okubonerezebwa olw’ettemu lyeyakola ku Nourine Nabirye ne Elizabeth Muteesi nga nabo yayokya emirambo gyabwe ekikolwa omulamuzi wa kkooti enkulu Margaret Muntonyi kyayogeddeko nti kyali kyabukambwe nyo.

Yali ssimu ya Ahereza eya Nokia Musasizi gye yaguza omuntu ow’okusatu eyalondoolebwa n’emuviirako okukwatibwa nga March 21st 2021.

Ono asingiddwa omusango oluvanyuma lwókukkiriza nti abantu abataano bonna abogedwako kituufu yabatta

Wabula omulamuzi amusaasidde natamusalira kibonerezo kyakufa kwekumusiba emyaka 134 ne nnaku 21.