Amawulire
Sseduvutto asibiddwa emyaka 3
Bya Ruth Anderah,
Omusajja owemyaka makumi 38 awereddwa ekibonerezo kyakukola busibe bwa myaka 3 lwakukunganya baana abanaku neyefula agenda okubawa obuyambi ate namala nabasobyako.
Kyalimpa Douglas nga mulimi ku kyalo Kasasa, Bukulula Sub County mu District ye Kalungu asibiddwa omulamuzi wa Buganda Road Ronald Kayizzi oluvanyuma lwokwekenenya obujulizi nakizuula nti ddala kituufu omusajja ono yefuula namunswa alyakunswaze.
Oludda oluwaabi lukakasizza kkooti nti wakati w’omwezi gwa May ne September 2018 e Kamwokya Kisenyi zone , Kyalimpa yafuna Ariyo Immaculate omwana omuwala owemyaka 17 okuva ku baali bamulabirira olwe bigendererwa bye ebyokumukozesa mu bikolwa ebyekikulu.
Wabula omukyala amanyikiddwako erya Asia nga yeyalonkoma omusajja ono mu banamateeka era nebamukwasa abaana abawala abawerera ddala musanvu abajjibwa mu maka ga Kyalimpa atereddwa mu kadukulu oluvanyuma lwabazadde babaana bano okutegeeza nti tebamanyi baana babwe omukyala ono jeyabateeka kuba okuva mu mwaka gwa 2018 tebabawulizangako.
Kino kyewunyisizza omulamuzi Kayizzi olwa Asia okulemera abaana abakulu nga kati bali mumyaka 24 na 25 kwekulagira police emukwate atwalibwe ku police anyonyole jeyateeka abawala bano natabadiza bazadde babwe ebanga eryo lyona.