Amawulire

Aba NEED basabye abamaddiini amalala okwegatta ku Basiraamu mu kulwanirira ebyabwe

Aba NEED basabye abamaddiini amalala okwegatta ku Basiraamu mu kulwanirira ebyabwe

Ivan Ssenabulya

November 27th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED kisabye aba-maddiini amalala okwegatta ku Basiraamu okutaasa ebintu byabwe. Kino kiddiridde ekitundu ky’Abasiraamu wiiki ewedde okulumba ekitebe kyóbusiraamu mu ggwanga ekya Uganda Muslim Supreme Council ku Old Kampala, nga baagala Mufti wa Uganda Sheikh […]

Omuddumuzi wa ADF addizibwayo ku alimanda

Omuddumuzi wa ADF addizibwayo ku alimanda

Ivan Ssenabulya

November 27th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah, Kkooti yé Nakawa eyongedde okusindika ku alimanda ateberezebwa okuba omuduumizi wa ADF Kyoto Abdul-Rashid amanyiddwa nga Njovu agambibwa okutta abalambuzi babiri ne dereeva waabwe mu kkumiro lye bisolo elya Queen Elizabeth National Park mu disitulikiti y’e Kasese. Njovu alabiseeko mu maaso g’omulamuzi […]

Omubaka Malende alambudde ku basubuuzi bómu Owino

Omubaka Malende alambudde ku basubuuzi bómu Owino

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2023

No comments

Bya Ronald Ssenvuma, Omubaka omukyala owa Kampala, mu lukiiko lwéggwanga olukulu, Shamim Malende agamba nti gavumenti essanye okusaawo enteseganya wakati w’abasubuuzi nayo okusobola okutema empenda kungeri yókumalawo obunkenke obuliwo mu basubuuzi b’omukatale ko Owino kubwananyini bwekifo ekyo. Bwabadde alambula akatale kano ne mubitundu bya kampala […]

Abakkesi baguddwako gwa Bubbi

Abakkesi baguddwako gwa Bubbi

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,  Abakkesi mu byokwerinda babiri basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Siena Owomugisha ne baggulwako omusango gumu ogw’obubbi n’okwekobaana okuzza omusango. Ababiri bano kuliko omusajja ow’emyaka 48 Lwanga Ramathan omutuuze w’e kibuli mu Divizoni y’e Makindye ne Ramanzani Wabwire ow’emyaka […]

Gavt egamba terina nsimbi zakuteekawo kakiiko ka Constitutional Review Commission

Gavt egamba terina nsimbi zakuteekawo kakiiko ka Constitutional Review Commission

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Gavumenti ekakasizza nga bweremereddwa okutandikawo akakiiko akagenda okwetegereza ssemateeka olw’ebbula ly’ensimbi. Bino byogeddwa minisita w’ebyamateeka nóbwenkanya, Norbert Mao oluvanyuma lwa sipiika wa palamenti Anita Among okusaba gavumenti etangaze ddi lwesuubira okutekawo akakiiko kano olwóennongosereza mu ssemateeka zikolebwe. Wiiki emu emabega gavumenti yali […]

Ababaka bawakanyiza ekyókwongera ku bungi bwábalamuzi

Ababaka bawakanyiza ekyókwongera ku bungi bwábalamuzi

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ababaka ba palamenti abatuula ku ku kakiiko akalondoola eby’amateeka bawakanyizza enoongosereza gavumenti zeyanjudde mu palamenti okwongeza omuwendo gw’abalamuzi mu kkooti ensukulumu ne kkooti ejjulirwamu. Minisita wébya ssemateeka, Norbert Mao ku lwa government  yayanjula ennongosereza mu tteeka lya Judicature Act n’ekigendererwa eky’okwongeza omuwendo […]

Poliisi ekutte Omusajja esse Mutabaniwe

Poliisi ekutte Omusajja esse Mutabaniwe

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga, Poliisi mu Disitulikiti y’e Kakumiro ekutte omusajja agambibwa okutta mutabani we. Omugenzi ategerekese nga Joshua Haki-zimana 13 nga muyizi ku ssomero lya Kyakaregura Primary School. Kigambibwa nti Munezero omutuuze ku kyalo Kakayo mugombolola yé Kasambya yafunye obutategeeragana ne mutabani we olw’ensonga ezitamanyiddwa, […]

Abébyóbulamu batongoza omukago mu kulwanyisa Siriimu

Abébyóbulamu batongoza omukago mu kulwanyisa Siriimu

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2023

No comments

Bya Kevin Githuku, Minisitule y’ebyobulamu olwaleero etongozza omukago gwa Global Alliance okumalawo akawuka ka mukenenya mu baana wetukantuukira mu mwaka 2030. Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu, Diana Atwiine ategeezezza nti olutalo lw’okumalawo mukenenya mu baana mu Uganda lweyongedde mu myaka kkumi egiyise, mu kaweefube w’okukomya […]

Bannakyewa benyamidde olwa Gavt engeri gy’ekutemu olutalo ku Nguzi

Bannakyewa benyamidde olwa Gavt engeri gy’ekutemu olutalo ku Nguzi

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Nga Uganda yeetegekera okwegatta ku nsi yonna okujjukira olunaku lw’ensi yonna olw’okulwanyisa enguzi nga 9th December, ebibiina by’obwannakyewa biraze obwenyamivu olwa gavumenti okulemererwa okuteeka amateeka munkola agalwanyisa obulyake. Olunaku luno lujjidde mu kiseera nga Uganda ekyasisinkana okusoomoozebwa okuwerako mu lutalo lwayo olw’okulwanyisa […]

Emisango gyókusobya ku baana nábakazi e Busoga gyeyongedde

Emisango gyókusobya ku baana nábakazi e Busoga gyeyongedde

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda, Poliisi mu Busoga East efulumizza alipoota eraga nti emisango gy’okusobya baana n’abakazi gyeyongedde nyo mu mwaka gwa 2023 bw’ogeraageranya n’omwaka 2022 okuva mu January okutuuka mu November. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Iganga, omwogezi wa poliisi mu Busoga […]