Amawulire
Emisango gyókusobya ku baana nábakazi e Busoga gyeyongedde
Bya Abubaker Kirunda,
Poliisi mu Busoga East efulumizza alipoota eraga nti emisango gy’okusobya baana n’abakazi gyeyongedde nyo mu mwaka gwa 2023 bw’ogeraageranya n’omwaka 2022 okuva mu January okutuuka mu November.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Iganga, omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Diana Nandawula ategeezezza nti mu mwaka gwa 2023 bafunye emisango 337 egy’okusobya ku baana na bakazi bw’ogeraageranya n’emisango 325 gyebawandiisa mu mwaka ogwagwa.
Alaga nti emisango gy’okusobya ku bakazi gyali 26.
Alabudde abazadde obutabikirira abakoze ebikolwa bino.