Amawulire
Abébyóbulamu batongoza omukago mu kulwanyisa Siriimu
Bya Kevin Githuku,
Minisitule y’ebyobulamu olwaleero etongozza omukago gwa Global Alliance okumalawo akawuka ka mukenenya mu baana wetukantuukira mu mwaka 2030.
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu, Diana Atwiine ategeezezza nti olutalo lw’okumalawo mukenenya mu baana mu Uganda lweyongedde mu myaka kkumi egiyise, mu kaweefube w’okukomya okukyusa akawuka ka siriimu okuva ku maama okudda ku mwana.
Ayongedde okulaga enkola ya gavumenti ebadde etandikiddwawo okukola ku bintu ebikulu ebirina okussibwako essira, mu lutalo lw’okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe.
Atwiine ayongedde okulaga nti Uganda eri ku lugendo lulungi olw’okukendeeza ku bulwadde mu baana kyokka n’ayongera n’asaba okumalawo ebituli byonna ebiyinza obutatunuulirwa mu lutalo olwo.