Amawulire

Omuddumuzi wa ADF addizibwayo ku alimanda

Omuddumuzi wa ADF addizibwayo ku alimanda

Ivan Ssenabulya

November 27th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti yé Nakawa eyongedde okusindika ku alimanda ateberezebwa okuba omuduumizi wa ADF Kyoto Abdul-Rashid amanyiddwa nga Njovu agambibwa okutta abalambuzi babiri ne dereeva waabwe mu kkumiro lye bisolo elya Queen Elizabeth National Park mu disitulikiti y’e Kasese.

Njovu alabiseeko mu maaso g’omulamuzi omukulu Elias Kakooza azeemu okumusindika mu kkomera okutuusa nga December 18th oluvannyuma lw’omuwaabi wa gavumenti Mariam Kuluthum okumutegeeza nti okunoonyereza ku musango guno kukyagenda mu maaso.

Kyoto ow’emyaka 31, mutuuze mu nkambi ya Domain e Mwalika mu Democratic Republic of Congo era nga naye yaliko omutuuze ku kyalo Suni mu Disitulikiti ye Budaka.

Kyoto yawambibwa nga November 6th 2023, mu kikwekweto ky’amagye g’oku mazzi aga UPDF ku nnyanja Edward ku kizinga Katwe -Kabatoro wamu n’abalala 2 abateeberezebwa okuba abayekera ba ADF era bbo battibwa mu kugezaako okudduka

Ono alwanagana n’emisango mwenda omuli, Obutujju, Obutemu n’omusango gw’okunyaga ssente n’ebiwandiiko by’entambula eby’abantu abasatu.