Amawulire
Aba NEED basabye abamaddiini amalala okwegatta ku Basiraamu mu kulwanirira ebyabwe
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED kisabye aba-maddiini amalala okwegatta ku Basiraamu okutaasa ebintu byabwe.
Kino kiddiridde ekitundu ky’Abasiraamu wiiki ewedde okulumba ekitebe kyóbusiraamu mu ggwanga ekya Uganda Muslim Supreme Council ku Old Kampala, nga baagala Mufti wa Uganda Sheikh Ramathan Mubajje aleete ebikwata ku bintu by’Abasiraamu byonna bye balumiriza nti byabbibwa.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina e Rubaga, Ssaabawandiisi wa NEED, Asuman Odaka agambye nti ebituuse ku Basiraamu olwaleero tebirina kutwalibwa ng’olutalo lwabwe nga balumiriza nti Mubajje agenti akozesebwa abali mu buyinza okutwala ebintu by’Abasiraamu.
Agambye nti oluvannyuma lw’okumaliriza ebintu by’Abasiraamu byonna abantu abali emabega wa Mubajje bagenda kuddukira ku bitebe by’amadiini amalala batwale ebyabwe n’asaba wabeewo kaweefube ow’awamu okukuuma ebintu byéddiini mu ggwanga.