Amawulire
Minisita wébyettaka asabye abali byámayumba nébizimbisibwa okuba abeesigwa
Bya Prossy Kisakye, Minisita avunanyizibwa kubyettaka Amayumba nenkulakulana yebibuga Judith Nalule Nabakooba asabye ebitongole ebiri kugw’okuzimba amayumba agatundibwa nebyo ebikola mu bintu ebyeyambisibwa mu by’okuzimba, okola omulimu n’obwesigwa nga bazimba amayumba agasanidde era amawangazi. Bino abyogeredde Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero bwabadde asisinkanyemu ebitongole ebizimba […]
Museveni agamba nti eddagala eriwonya Mukenenya Uganda erina wetuuse
Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni akakasizza nti Uganda eri mu nteekateeka ezisembayo okwevumbulira eddagala eriwonya n’okutangira okusiigibwa akawuka ka siriimu. Bino yabyogeredde mu district ye Rakai mu kukuza olunaku lwensi yonna olwókwefumintiriza ku akawuka ka siriimu. Museveni yategezeza nti ekitongole ekya Uganda […]
Eyasobya ku mwana owémyaka 4 esibiddwa emyaka 34
Bya Ruth Anderah, Abalamuzi ba kkooti ejjulirwamu 3 bakakasuzza ekibonerezo ky’e myaka 34 ekyawebwa omusajja owemyaka 47 oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gwokusobya ku mwana owemyaka 4 gyoka ate namusiiga nakawuka akaleete siriimu. Benywanira Emmanuel myaka 47 nga 13th April 2018 omulamuzi wa kkooti enkulu e Rukungiri […]
Kabaka akunze abakulembeze okujjukiza abantu okwewala Siriimu
Bya Prossy Kisakye, Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, akunze abakulemebeze ku mitendera egyenjawulo okukulemberamu ekiwenda ekyókumala amaanyi ekirwadde kya mukenenya mu ggwanga lino. Ssabasajja agamba nti buvunanyizibwa bwa bakulembeze okujjukiza abantu babwe okwekuuma ekirwadde kya siriimu naddala mu kaseera kano nga abebyóbulamu […]
Abé Koome basonze ku bibasibyeko Mukenenya
Bya Kiguli Diphus, Abatuuze abawangalira mu bizinga bye Koome mu district ye Mukono basonze ku bivirako obulwadde bwa mukenennya okweriisa enkuuli mu bitundu byabwe. Bano nga bakulembeddwamu ssentebe w’eggomboloola eno Lawrence Kiyingi bagambye nti abavubuuka abasinga ensangi zino tebalina byakola okwo nga kwogase n’okwesiiwa amagengere […]
Abakulembeze bénnono basabiddwa okuyambako Gavt mu kulwanyisa obutabanguko
Bya Mike Sebalu, Minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu Betty Amongi asabye abakulembeze b’ebyobuwangwa okwegatta ne gavumenti mu kulwanyisa obutabanguko obweyongedde ku bakyala n’abawala okwetoloola Ggwanga. Okusinziira ku Amongi, ebikolwa eby’obulabe ng’okufumbiza abaana abato, embuto z’abavubuka n’okukomola abakyala mu mbugo bikyaliwo mu ggwanga. Okwogera […]
Tukwatire wamu okulwanyisa okutyobolebwa kw’butonde bwénsi
Bya Prossy Kisakye, Okunoonyereza okukoleddwa ekitongole ky’ensi yonna ekitakabanira obutonde bwensi ki World wide Fund for Nature kulaze nti abakyala n’abaana bandyongera okukosebwa n’ebitundu 14% olw’okutyoboolebwa kw’Obutondebwensi munsi yonna singa tewaba kikolebwa kubutaakiriza. Okunoonyereza kulaze nti okufumbisa enku n’amanda kukosezza nnyo Obutonde bwensi, nga ekyetaagisa ye […]
Abakwatibwa ekirwadde kya siriimu e Bugiri beeyongedde
Bya Abubaker Kirunda, Ng’eggwanga lyetegekera okujjukira olunaku lw’ensi yonna olwa mukenenya olunaku lw’enkya, abakugu mu by’obulamu beeralikirivu olw’omuwendo gw’abantu abapya abakwatibwa akawuka ka mukenenya ogweyongera buli lukya. Avunaanyizibwa ku kulwanyisa siriimu mu disitulikiti y’e Bugiri Deogracious Mwondha, agamba nti kati omuwendo guyimiridde ku bitundu 3 […]
Kaliisoliiso alabudde ba juniya offisa kunguzi
Bya Ndaye Moses, Kaliisoliiso wa Gavumenti Betty Kamya alabudde abakozi ba gavumenti abasookerwako obutakozesebwa banne mu kwenyigira mu nguzi. Agamba nti bambega, bwebatandika okunonyereza wekanga bakwata bano abakozesebwa okulya enguzi olwo bakama baabwe ne batakwatibwako songa bebeera emabega waayo. Bino abyogedde ng’asisinkanye abakola ku by’okugula […]
Bya Prossy Kisakye ne Mike Sebalu, Obukulembeze bw’ekibiina ki FDC ettabi rye Najjanankumbi bulagidde ababaka ba FDC okuddamu okukiika mu ntuula za parliament, bave mu kwekalakaasa kwa bóludda oluvuganya goverment kwerulimu. Nampala wa FDC mu parliament, Yusuf Nsibambi agambye nti basoose kutuula kwekenneenya ensonga eno, […]