Amawulire

Ivan Ssenabulya

November 28th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Mike Sebalu,

Obukulembeze bw’ekibiina ki FDC ettabi rye Najjanankumbi bulagidde ababaka ba FDC okuddamu okukiika mu ntuula za parliament, bave mu kwekalakaasa kwa bóludda oluvuganya goverment kwerulimu.

Nampala wa FDC mu parliament, Yusuf Nsibambi agambye nti basoose kutuula kwekenneenya ensonga eno, era nebasalawo ababaka bakyo badde mu parliament bateeseze eggwanga.

Nsibambi agambye nti wadde memba ku lukiiko olukulembeze olw’oludda oluvuganya government olwasalawo ensonga yokweesamba entuula, nti naye ebirowoozo byatwala mu lukiiko luno zibeeera zakibiina kyavaamu.

Anokoddeyo eky’okulabirako nti government eteekateeka okwanjula n’okuyisa embalirira y’eggwanga ey’omwaka ogujja 2024/2025, nga n’olwekyo tebayinza kusigalira mabega nga tebawaddeeyo birowoozo byabwe.

Ababaka ba FDC abatali bamu okuli omubaka omukyala owa district ye Dokolo Celia Ogwal, Ssabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafabi era omubaka wa Budadiri west babadde beetaba mu ntuula za parliament, wadde nga banabwe babadde mu kwekandagga.

Ebyo nga biri bityo ye akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Mathius Mpuuga, asabye banne bakulembera okusigala ku mulamwa obutadda mu ntuula okutuusa nga bafunye okwanukulwa okunsonga zebawa gavumenti.

Era nabasaba obutakkiriza kutiisibwatiisibwa sipiika basigale nga bakiika mu bukiiko bwabwe obulala.