Amawulire

Museveni agamba nti eddagala eriwonya Mukenenya Uganda erina wetuuse

Museveni agamba nti eddagala eriwonya Mukenenya Uganda erina wetuuse

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni akakasizza nti Uganda eri mu nteekateeka ezisembayo okwevumbulira eddagala eriwonya n’okutangira okusiigibwa akawuka ka siriimu.

Bino yabyogeredde mu district ye Rakai mu kukuza olunaku lwensi yonna olwókwefumintiriza ku akawuka ka siriimu.

Museveni yategezeza nti ekitongole ekya Uganda Virus Research Institute,kiriko wekituuse mu kunoonyereza ku ddagala erigema akawuka ka mukenenya.

Dr Daniel Kyabayinze kulwa ministry y’ebyobulamu agambye nti government ekoze ekisoboka okulwanyisa mukenenya era nti amakubo mangi agatereddwawo okulwanyisa akawuka okusaasaana mu baana abato abazaalibwa.

Abébyóbulamu bagamba nti abaana abawala abali wakati w’emyaka 15 – 25 bangi bazuuliddwamu akawuka ka siriimu ensangi zino.