Amawulire

Tukwatire wamu okulwanyisa okutyobolebwa kw’butonde bwénsi

Tukwatire wamu okulwanyisa okutyobolebwa kw’butonde bwénsi

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Okunoonyereza okukoleddwa ekitongole ky’ensi yonna ekitakabanira obutonde bwensi ki World wide Fund for Nature kulaze nti abakyala n’abaana bandyongera okukosebwa n’ebitundu 14% olw’okutyoboolebwa kw’Obutondebwensi munsi yonna singa tewaba kikolebwa kubutaakiriza.

Okunoonyereza kulaze nti okufumbisa enku n’amanda kukosezza nnyo Obutonde bwensi, nga ekyetaagisa ye gavumenti okwenyigira obutereevu mu kaweefube w’Okutaasa ebibira nga esimba ebipya, okutaasa entobazzi ezisengejja amazzi n’okulwanyisa okusuula ebicupa bya plastic mu nnyanja n’emigga.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu kwetegekera olutuula lw’ensi yonna olukwata ku Butondebwensi olugenda okubeera e Dubai mu December,2023,  Ivan Tumuhimbise nga yaakulira ekitongole ki World Wide Fund for Nature Uganda asabye gavumenti eyongere amaanyi mu kuwagirwa abavubuka okwenyigira mu kusimba emiti, okutaasa entobazzi, n’okunyweza amateeka agakangavvula abatyoboola Obutonde bwensi.

Tumuhimbise agambye nti ssinga emiti gyongerwa okusimbibwa, empewo ey’obulamu yakweyongera mu ggwanga, n’emikka egyoobutwa egiva ku makolero agenjawulo gyakukendeera mu bwengula.