Amawulire

Kabaka akunze abakulembeze okujjukiza abantu okwewala Siriimu

Kabaka akunze abakulembeze okujjukiza abantu okwewala Siriimu

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, akunze abakulemebeze ku mitendera egyenjawulo okukulemberamu ekiwenda ekyókumala amaanyi ekirwadde kya mukenenya mu ggwanga lino.

Ssabasajja agamba nti buvunanyizibwa bwa bakulembeze okujjukiza abantu babwe okwekuuma ekirwadde kya siriimu naddala mu kaseera kano nga abebyóbulamu bagamba nti obulwadde bweyongedde nyo mu bantu.

Ono mungeri yemu asabye bannauganda okwejjamu endooza egamba nti eddagala weriri nga nólwekyo tebakyafaayo kwekuuma ekintu ekyóbulabe enyo mu kawefube wókulwanyisa ekirwadde kino mu ggwanga.

Okusinzira ku bibalo mu Uganda abantu abasoba mu kakadde kamu ne kitundu bebawangaala ne kirwadde kya mukenenya nga nókusinga ababulina balinyo mu bibuga ne ku bizinga.