Amawulire

Eyasobya ku mwana owémyaka 4 esibiddwa emyaka 34

Eyasobya ku mwana owémyaka 4 esibiddwa emyaka 34

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abalamuzi ba kkooti ejjulirwamu 3 bakakasuzza ekibonerezo ky’e myaka 34 ekyawebwa omusajja owemyaka 47 oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gwokusobya ku mwana owemyaka 4 gyoka ate namusiiga nakawuka akaleete siriimu.

Benywanira Emmanuel myaka 47 nga 13th April 2018 omulamuzi wa kkooti enkulu e Rukungiri Moses Kazibwe Kawumi yamusingisa omusango era namuwa ekibonerezo kyakukola busibe okumala emyaka makumi 35.

Wabula omusajja ono teyamatira nansalawo ya kkooti enkulu e  Rukungiri ng’agamba ekibonerezo ekyamuwebwa  kyali kinene nyo.

Kati abalamuzi 3 Christopher Gashirabake, Muzamiru Kibeedi ne munabwe Oscar John Kihika bakiriziganyinza ne munabwe owa kkooti enkulu nebamulagira akole ekibonerezo ekyamuwebwa akimaleyo.

Bagaseeko nti enjawulo wakati we myaka 47 ne myaka 4 yali nenenyo ate nga obulamu bwomwana ono bwakendeera oluvanyuma lwokumusiiga akawuka akaleeta mukenenya ku myaka emito bwejityo.

Wabula omusajja ono wakukola ekibonerezo kya myaka 32 oluvanyuma lwokumusalirako myaka 3 jeyali amaze mu kkomera ku alimanda  nga tanasalibwa musango.

Kigambibwa omusango yaguzza nga October 30th 2015 e Rukungiri  jjajja w’omwana ono bweyali akedde nyo  okugenda mu ddwaliro nga mulwadde naleka muzukuluwe nga yebase.