Amawulire

Gavt egamba terina nsimbi zakuteekawo kakiiko ka Constitutional Review Commission

Gavt egamba terina nsimbi zakuteekawo kakiiko ka Constitutional Review Commission

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti ekakasizza nga bweremereddwa okutandikawo akakiiko akagenda okwetegereza ssemateeka olw’ebbula ly’ensimbi.

Bino byogeddwa minisita w’ebyamateeka nóbwenkanya, Norbert Mao oluvanyuma lwa sipiika wa palamenti Anita Among okusaba gavumenti etangaze ddi lwesuubira okutekawo akakiiko kano olwóennongosereza mu ssemateeka zikolebwe.

Wiiki emu emabega gavumenti yali ereese ennongoosereza mu ssemateeka mu bitundutundu palamenti ze yagaana ng’eyagala wabeewo ennongoosereza mu ssemateeka ezómuggundo mu kiseera kye kimu.

Mao agamba nti olw’obuzibu bw’ensimbi kati balowooza ku ky’okukozesa akakiiko akakola ku nnongoosereza mu mateeka ga Uganda aka Uganda law reform commission buno era amangu ddala nga kabineti emaze okukkiriza ebiteeso by’okukyusa ssemateeka, ennongosereza zakwanjulibwa mu palamenti.