Amawulire

Abakkesi baguddwako gwa Bubbi

Abakkesi baguddwako gwa Bubbi

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah, 

Abakkesi mu byokwerinda babiri basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Siena Owomugisha ne baggulwako omusango gumu ogw’obubbi n’okwekobaana okuzza omusango.

Ababiri bano kuliko omusajja ow’emyaka 48 Lwanga Ramathan omutuuze w’e kibuli mu Divizoni y’e Makindye ne Ramanzani Wabwire ow’emyaka 42 omutuuze w’e Busabala Masajja mu Makindye Ssabagabo mu Wakiso Diatrict.

Bavunaanibwa wamu n’omusuubuzi Abu Seguya Baker ow’emyaka 46.

Oludda oluwaabi lugamba nti abasatu bano n’abalala nga November 1st 2023 nga basinziira ku kusiteegi ye  Kalerwe mu ppaaka enkadde mu Kampala, babba essimu IPhone 12 nga ebalirirwamu obukadde bwa sillingi 2.5 eyali eya Sulaiman Kiggundu.

Balina okudda mu Kkooti nga December 15th 2023 okwogera ku musango guno