Amawulire

Amawanga góbuvanjuba galabuddwa ku Nzige ezisuubirwa okulumba

Amawanga góbuvanjuba galabuddwa ku Nzige ezisuubirwa okulumba

Ivan Ssenabulya

December 12th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Bakakensa mu biwuka ebisala ensalo nga bisanyawo ebirime n’obutonde nga n’enzige mwozitwalidde okuva mu kibiina ki Inter Governmental Authority on Development (IGAD) balabudde amawanga gannamukago ng’essaawa yonna enzige bwezandiddamu okulumba amawanga gezatuukamu gyebuvuddeko ekireseewo okwelariikirira mu balimi mu bitundu ebyo.

Okusinziira ku bakugu, enzige zino zisuubirwa wakati w’omweezi gw’okusatu n’ogwokutaano omwaka ogujja, nga kati baagala amawanga okuzibula amaaso beeteekereteekere embeera eyo mu budde.

Okusinzira ku Kenneth Mwangi akulira enteekateeka erwanyisa enzige n’ebiwuka ebirala ebigwa mu tuluba elyo mu mukago gwa IGAD, agamba nti embeera y’obudde, ebbugumu n’ebifo ebiwuka bino gyebizaalira mu kiseera kino biwa enkizo ebiwuka bino okuddamu okuzaala nga n’emu mawanga agamu gyebitera okusibuka bitandise okulabwako wadde nga bikyali bitono.

Kati ayagala amawanga okuddamu okuzuukusa okubiryanyisa nga bukyali.

Mu mwaka gwa 2020, abantu abakunukkiriza mu bukadde 3 n’emitwalo 40 nmu mawanga ga East Africa bayonenerwa ebyabwe enzige nga Ethiopia ne Somalia gegasinga okuyisibwa obubi.

Wano mu Uganda, Enzige zayingira nga ziva ku muliraano e Kenya ne zitukira mu district eye Amudat n’oluvanyuma nezimaamira ebitundu ebilala ebya Karamoja, Acholi, Teso, Sebei wamu Lango.