Amawulire

Mugemese abaana

Ali Mivule

April 27th, 2017

No comments

Bannayuganda bonna basabiddwa okufuba okulaba nga bagemebwa endwadde ez’enjawulo ezewalika nga omuntu agemeddwa.

Omulanga guno gukubiddwa minisita w’ebyobulamu Dr.Jane Ruth Achieng mu kuggulawo wiiki y’okugema ey’omulundi ogw’omusanvu.

Okugema kuno kwatongozeddwa olunaku lw’eggulo ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna nga kino kigendereddwamu okukendeeza ku baana abafa nga bato okwetolola ensi yonna.

Dr. Anchieng agamba abantu abalamu bebajja okutuusa Uganda mu luse lw’amawanga agali yaddeyaddeko.

Okusinziira ku kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna , omwana omu ku bataano mu Africa tebasobola kufuna buweereza bwakugemebwa.

 

Uganda lyelimu ku mawanga 10 agalimu abaana abatali bageme mu Africa.