Amawulire

Obusanyi bukyalemye

Ali Mivule

April 26th, 2017

No comments

Minisitule y’ebyobulimi eri mu kusattira olw’obusanyi obufuukidde ddala ekizibu nga bwatuuse n’okudda ku matooke emmere esinga okuliibwa bannayuganda okuva ku kasooli n’ebikajjo bwebubadde bulya kumpi  kwagala kubimala ku misiri.

Mukiseera kino abakungu ba minisitule batuula bufofofo nga era webwazibidde  nga batuuzizza enkiiko ez’enjawulo okusalira ekizibu kino amagezi.

Kati nga ayogerako n’affe, minisita omubeezi ow’ebyobulimi Christopher Kyabazanga agamba obusanyi buno butaataganyizza enteekateeka za minisitule kubanga baali babutegekedde obukadde 20 wabula kirabika zandisingawo.

Minisita agamba ekisinga okuwasa ennaku kwekuba nti obusanti buno bulwawo okufa eddaga lyebabufuuyiza kale nga kati kyandyetaaga enyonyi okubufuuyira nga era bakuddamu okutuula olwaleero balebe eky’okukolera obusanyi buno.

Disitulikiti okuli Luweero, Mityana, Budaka zezimu ku zisinze okukosebwa obusanyi buno nga abaayo batya nti singa mpaawo kyamaanyi kikolebwa enjala kisala matu yandibalumba.