Amawulire

Amaliba g’olugave gabakwasizza

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

  Bya Ali Mivule Poliisi mu disitulikiti ya Abim eriko abasajja 3 bekutte nga batunda amaliba g’olugave agabalirirwamu obukadde 6. Bano bakwatiddwa n’amaliba g’olugave 2 n’olulamu lumu nga bagatunda.   Abakwatiddwa kuliko n’omuserikale wa poliisi  Orebo Felix,ne banne Logel Bosco wamu ne  Omara Sylvester . […]

Paasita Bugingo Bayibuli zeyayokya zimulakidde

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

Bannadiini ebenjawulo bongedde okuvumirira omusumba w’abalokole eyayokezza bayibuli. Rev Eng Emmanuel Mwesigwa  owekanisa ya University ye Kyambogo agamba kino kikyamu nga era bbo ab’ekibiina kya  bible society of Uganda batiisizza n’okumukuba mu mbuga z’amateeka. Wabula ye  Rev Mwesigwa  agamba okutwala pasita Bujingo mu mbuga z’amateeka […]

Abagambibwa okutta Kaweesi bavunaniddwa

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

  Abantu 13 basimbiddwa mu kooti maaso g’omulamuzi we Nakawa nebavunanibwa emisango gyokutemula eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi. Kati 13 amannya gaabwe getugenda okukakasa, basimbiddwa maaso g’omulamuzi we ddaala erisooka Noah Sajjabi nebasomerwa emisango 5 okuli obutemu, obutujju nemiralala nga gyekuusa ku kukuba […]

Temuddamu okunyega ku bya Kaweesi

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

Kooti eweze emikutu gy’amawulire gyonna obutaddamu kunyega ku nsonga zakunonyereza okugenda maaso ku kutibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi okumala ekiseera ekigere. Ekiragiro kino kiweereddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti Joy Kabagye Bahinguza. Kino kiddiridde ssabapoliisi w’egwanga Gen Kale Kayihura ngayita mu […]

Besigye bamuganye okukyalira Dr Stella Nyanzi mu kkomera

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

  Munna FDC Dr Kiiza Besigye bamuganye  okukyalira omukyala ateerya ntama Dr.Stella Nyanzi mu kkomera e Luzira gyali. Besigye nga awerekeddwako bannakibiina abalala akadde kugenda ku kkomera akyalire Nyanzi wabula tebamuganyizza. Ab’amakomera bamutegezezza nti olwaleero ssirwakukyalira bakyala mu kkomera kale ebyokulaba Nyanzi abiveeko. Wabula Besigye […]

Seminti w’omuzikiti akwasizza 3

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

  Poliisi ye  Matugga mu district ye wakiso abantu 3 kubigambibwa nti babye ensawo za seminti 46 okuva ku Muzikiti gwa Masgid Juma e Migadde. Abakwatidwa kuliko Nuru Najjuma owemyaka  42  nga mutuuze we Kazo Angola , Muhammed Sserunjogi ne Steven Kalinda omugoba wa mmotooka  […]

Gwebammye ssente afumise bba ekiso

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

Omusajja atemera mugyobukulu 23 anyiga biwundu oluvanyuma lwa mukyala we okumufumita ekiso kumutwe nga balwanira ensimbi. Robert Serugo myaka  23 nga  mutuuze mu zooni ye  Lubya e Namugoona nga emirimu gye agyikolera mu kibuga Kampala e Nakivubo agamba nti mukyala we Esther Serugo yatabuse oluvannyuma […]

Mutwongeze ku musaala-Bassentebe

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

Nga palamenti eri mu nteekateeka ezisembayo ku mbalirira y’eggwanga anatera okusomebwa, ba ssentebe bazidisitulikiti nabo balajanye nti bafuna omusaala mutono baagala babongeze waakiri bafune obukadde 15. Mukiseera kino bassentebe bazidisitulikiti bafuna obukadde 2 nga tebanagibwako musolo. Bweyabadde alabiseeko eri akakiiko ka palamenti aka gavumenti ez’ebitundu, […]

Okulonda ba ssentebe b’ebyalo kutekeddwa mu mbalirira

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

Okulonda kw’obukiiko bw’ebyalo ne bassentebe kwa mwaka gwabyansimbi ogujja okusinziira ku minisita wa gavumenti ez’ebitundu Tom Butime. Ku ntandikwa y’omwaka guno minjisitule y’ebyensimbi yalangirira nga obuwumbi 16 ezaali ez’okutegeka okulonda bwezakyusibwa okugulira abaali bafa enjala emmere.   Kati bweyabadde alabiseeko eri akakiiko ka palamenti aka […]

Ebikebera omusujja gw’ensiri bichupuddwa

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

  Abakugu mu by’obulamu balaze okutya olw’ebikozesebwa okukebera omusujja gw’ensiri eby’ebichupuli  okweyongera ku katale. Mu December wa 2012 minisitule y’ebyobulamu yaleeta ebikozesebwa ebimanyiddwa nga The Rapid Diagnostic Test (RDT) okukebera omuntu 0ba alina omusujja gwensiri nga tanateekebwa ku ddagala. Wabula okunonyereza okwakoleddwa ab’ekibiina kya Coalition […]