Amawulire

Paasita Bugingo Bayibuli zeyayokya zimulakidde

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

Bannadiini ebenjawulo bongedde okuvumirira omusumba w’abalokole eyayokezza bayibuli.

Rev Eng Emmanuel Mwesigwa  owekanisa ya University ye Kyambogo agamba kino kikyamu nga era bbo ab’ekibiina kya  bible society of Uganda batiisizza n’okumukuba mu mbuga z’amateeka.

Wabula ye  Rev Mwesigwa  agamba okutwala pasita Bujingo mu mbuga z’amateeka tekijja kugonjoola bizibu wabula yetaaga kubuulirira era yetondera eggwanga lyonna.

Ku nkomerero ya wiiki ewedde ssabasumba w’ekeleziya ya Uganda yasaba abakulisitu bonna okusabira paasita ono eyayokya bayibuli.