Amawulire

Abagambibwa okutta Kaweesi bavunaniddwa

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

 

Abantu 13 basimbiddwa mu kooti maaso g’omulamuzi we Nakawa nebavunanibwa emisango gyokutemula eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi.

Kati 13 amannya gaabwe getugenda okukakasa, basimbiddwa maaso g’omulamuzi we ddaala erisooka Noah Sajjabi nebasomerwa emisango 5 okuli obutemu, obutujju nemiralala nga gyekuusa ku kukuba obwa kondo.

Oludda oluwaabi lugamba nti nga 17th March 2017 wali e Kulambiro mu Kampala bano bebatta AIGP Felix Kaweesi, nomukuumi we Kenneth Erau saako omugoba we mmotoka Godfrey Wambewa bwebaali bolekera ku mirimu.

Abavunanwa tebakiriziddwa kubaako kyebanukula ku misango ejibasomeddwa, kubanga jiwulirrwa mu kooti enkulu wokka.

Omulamuzi Sajjabi kati absindise ku alimanda e Luzira okutuuka nga 5th May nga poliisi bwegenda maaso nokunonyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *