Amawulire

Ebikebera omusujja gw’ensiri bichupuddwa

Ali Mivule

April 21st, 2017

No comments

 

Abakugu mu by’obulamu balaze okutya olw’ebikozesebwa okukebera omusujja gw’ensiri eby’ebichupuli  okweyongera ku katale.

Mu December wa 2012 minisitule y’ebyobulamu yaleeta ebikozesebwa ebimanyiddwa nga The Rapid Diagnostic Test (RDT) okukebera omuntu 0ba alina omusujja gwensiri nga tanateekebwa ku ddagala.

Wabula okunonyereza okwakoleddwa ab’ekibiina kya Coalition for Health Promotion and Social Development (HEPS-Uganda) kwalaze nga abasuubuzi abatali bakitongole kyabyaddagala ekya National Drug Authority bebaleeta ebikebera bino ebikyamu.

Alipoota gyebalaze ewabula nti abekitongole kyebyeddagala basanye okufuna aabntu bebesiga okutuusa kuno ebikozesebwa bino nga ate bisanye okuddamu okwekebejebwa okulaba nga bituukagana n’omutindo.

Akulira ekibiina kino Denis Kibira agamba gavumenti esanye n’okwanguya okuyisa etteeka erikwata abachupula ebikebera bino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *