Amawulire

Ba paasita bokunguudo bibononekedde

Ali Mivule

April 20th, 2017

No comments

Ab’ekitongole kya Kampala capital city authority bagobye ababulizi b’enjiri bonna ku nguudo banonye amasinzizo gyebaliisiza ekigambo kya mukama. Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa, anaddamu okusangibwa ku luguudo nti aliisa kigamba kya mukama Katonda wakuyoolebwa. Bano balabuddwa nti bamenya etteeka erya gavumenti ez’ebitundu erya 2006. Kino wekijidde […]

Omukazi yeyokerezza mu kazigo

Ali Mivule

April 20th, 2017

No comments

Abatuuze be  Bundimasoli mu tawuni ye  Ntandi mu disitulikiti ye Bundibugyobaguddemu ekyekango oluvanyuma lw’omukazi okwokyera bba  bba mu nyumba naye neyeyokya n’afa. Omukazi ono ategerekese nga  Nyangoma muka Mugisha Isembambu. Baliraanwa bagamba nti abafumbo bano baludde nga balina obuttakanya nga era ekiro baasuze bayomba omukazi […]

Bakijambiya bazzemu okulabula

Ali Mivule

April 20th, 2017

No comments

Bya Gertrude Mutyaba Newankubadde Omwogezi wa Police mu ggwanga AIGP Assan Kasingye ajja agumya bannauganda nga embeera mu bendo-bendo lya Masaka bweri mu nteeko, abatuuze mu kibuga kye Lukaya  mu district e Kalungu bazzeemu okusattira olw’ebibaluwa ebibasuuliddwa. Abaalabuddwa abazigu basangibwa ku byalo bibiri okuli Kirinnya […]

Agenze mu kkooti lwamayembe

Ali Mivule

April 20th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Omukazi atutte bba  we ku poliisi lwakumuwendulira mayembe negamkuba emiggo kate gimutte. Halima Naigaga owemyak 23 alumirizza bba Isa Isabirye owemyaka 31 okumutwala musabo gyebamukubidde emiggo nga mukiseera kino takyasoboola kutuula. Naigaga agamba ,Isabirye ,yakomyewo namugamba amuwerekereko era baasibidde mu ssabo ebintu […]

Uganda eggye amagye mu Central African Republic

Ali Mivule

April 20th, 2017

No comments

Eyali minisita w’ebyokwerinda mu gavumenti yekisiikirize Kaps Hassan Fungaroo asanyukidde ekya Uganda okugya amagye gaayo mu ggwanga lya Central African Republic. Mukiseera kino ekibinja ky’abajaasi ekisooka kyakomyewo dda ku butaka kwabo abasoba mu 2000 abali mu ggwanga lino. Fungaroo nga era mubaka wa palamenti nga […]

Aba FDC tebamatidde na nsalesale w’amassimu

Ali Mivule

April 20th, 2017

No comments

  Yadde nga gavumenti yayongezzaayo nsalesale w’okuwandiisa kaadi z’amassimu, ab’oludda oluvuganya gavumenti bagamba ennaku neera zetaaga okwongezebwayo okusinga kwezo ezalambikiddwa. Gavumenti yasazizzaamu nsalesale wa nga 20 April okugyako amassimu g’abo abataaziwandiisa okutuusa nga 19 May wabula ab’oludda oluvuganya gavumenti bagamba ennaku zino zikyali ntono ddala. […]

Omusajja bamutemyeko omutwe

Ali Mivule

April 18th, 2017

No comments

  Bya Abubaker Kirunda Poliisi ye Mayuge eriko omulambo gw’omusajja ow’emyaka 52 gweguddeko wabula nga omutwe gwatemeddwako. Entiisa eno ebadde ku kyalo Mugiri mu gombolola ye Mpungwe Ekiwuduwudu kya  Musa Magumba kisangiddwa mu musiri gwa muwogo. Omukyala abadde agenze okulima y’agudde ku mulambo n’alaya enduulu […]

Laddu esse omuvubi

Ali Mivule

April 18th, 2017

No comments

By Abubaker Kirunda Laddu ekubye omuntu omu n’emuttirawo mu disitulikiti ye Buyende. Omugenzi ategerekese nga  Van Moningi omutuuze ku mwalo gwe  Bumogoli mu gombolola ye Buyende. Omugenzi laddu okumukuba abadde agabula bakasitooma be caayi. Ssentebe w’abavubuka ku muluka gwe  Bumogoli Richard Gumula ategezezza nga omugenzi […]

Amataba geeze taxi negatta omuntu 1

Ali Mivule

April 18th, 2017

No comments

  Omuntu omu afiiriddewo oluvanyuma lw’amataba okweera taxi wali mu bitundu bye Mbale. Amataba gasoose kweera lutindo lwe Gadumire olwo taxi oluzze nayo nelugenderamu. Taxi eno namba  UAU 808U y’eguddemu nga era n’abalala abawerako babuuse n’ebisango ebyamanyi wabula nga tebanamanyika muwendo. Omusasi waffe  Mudangha Kolyangha […]

Buganda yakugabira abasenze ebyapa

Ali Mivule

April 18th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Ssabasajja asiimye abantu abali eyo mu mitwalo 13 abebibanja abawandiisibwa bawebwe ebyapa mu nkola etuumidwa kyapa mu ngalo nga  ensimbi zisalidwako ebitundu 200%nga enkola eno ekoma mumwezi gwa 10 Bw’abadde atongoza enkola eno, Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategezezza nga kino […]