Amawulire
Nsalesale wokuwandiisa amasimu abulako lunaku
Nga ebula olunaku lumu lwokka nsalesale w’okuwandiisa kaadi z’amassimu aggweko, bannayuganda abawerako naddala abali mu byalo baandilekebwa ebbali. Abakakiiko akalungamya ku byempuliziganya aka UCC kaategeeza nga nsalesale bw’agenda okuggwako nga 20 April anaaba teyewandiisizza essimu yakugibwako. Omwogezi w’akakiiko kano Fred Otunu teri kwongezaayo nsalesale ono […]
Makerere egobye 15
Aba University ye Makerere bagobye abayizi 15 abajingirira empapula za dipulooma okuweebwa ebifo mu ssomo ly’obusawo wamu n’okutabula eddagala. Abagobeddwa kuliko abasoma obusawo 13 mu mwaka ogusooka sso nga abasoma okutabula eddagala bali 2. Nga 9 March omuwandiisi wa University Alfred Masikye Namoah, yawandiikira bano […]
Abadde abuuka mu baasi emufootodde
Bya Malik Fahad Omuntu omu y’afiiriddewo n’abalala 3 nebabuuka n’ebisago ebyamanyi oluvanyuma lw’akabenje akabaddemu emmotoka 3 mu disitulikiti ye Lwengo. Omugenzi ategerekese nga Willy Bbosa omusaabaze mu baasi ya kampuni ya Bismarkana namba UAM 813C ebadde eva e Kabale ngedda e Kampala. Akabenje kano kabadde […]
Temweralikirira eby’okwerinda ku Easter binywevu
Bya Shamim Nateebwa Ng’abakulistaayo betegekera okukuza amazukira, Poliisi eriko ekiwandiiko ky’efulumizza mwebakakasirizza nti eggwanga bweritebenkedde awatali bwerakirivu bwonna. Ekiwandiiko kino kisomeddwa omogezi wa poliisi AIGP Hassan Kasigye era nasaba abantu babulijjo okujaguza mu mirembe ate okusigala bulindaala k kabi konna akayinza okubatusibwako abantu abakyamu. Kati […]
Obubaka bwa ssabasajja obw’amazuukira
Bya Shamim Nateebwa Nga twetegekera okukuza amazuukira ga Yesu Kristo ag’omwaka guno,Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda II asabye abantu bbe Okwenyigira mu by’obulimi n’obulunzi okukozessa ennimiro okulima ebirime ebyanguwa okukula n’okweyambisa amagezi agabawebwa abakuggu. Ssabasajja mungeri yemu yenyamidde olw’obulwadde bwa sirimu obwali butandiise okukendera naye nga […]
Ekkubo ly’omusaalaba lijjumbiddwa
Bya basasi baffe Abakulisitu okwetoloola eggwanga batandise okutambula mu kkubo ly’omusaalaba nga bajjukira Yeesu Kulisitu olunaku lweyatibwa. Mu kampala amakanisa egenjawulo gasuubirwa okukunganira ku ssomero lya Old Kampala mu kusaba okwawamu. Ab’ekeleziya ye Rubaga bakulembeddwamu Fr. Joseph Ssebunya nga era baakuyita Mengo Kisenyi boolekere Old […]
Abakozi bekyangidde ku bachina
By Sam Ssebuliba Abakozi ba kampuni ya CNOOC oil abazimba ebbibiro ly’amasanyalaze erya Karuma Hydro Power Project e Kiryandongo bediimye nga bemulugunya ku misolo emikakali egibwagibwa n’obukyafu obususse. Abakozi bagamba abadisistulikiti ye Kiryandongo baabasabye omusolo 10$ ku musaala gwabwe nga kwotadde ogwa gavumenti wamu n’ezekitavu […]
Ekitta bantu e Masaka kitwaliddemu omuyizi w’essomero
Bya Gertrude Mutyaba Omuyizi wa Seniya esooka akwatiddwa lwakusangibwa nga yoomu kwabo abenyigira mu kusuula ebibaluwa ebyewanisa banna Masaka emitima. Omukwate (amannya gasirikiddwa) muyizi ku ssomero lya Holy Family Secondary School erisangibwa mu gombolola ye Kyamuliibwa mu district e Kalungu. Afande Alex Nuwamanya nga yaakulira […]
Abbye embuzi zimulakidde
Bya Ruth Anderah Omusajja ow’emyaka 43 akwatiddwa nasimbibwa mu mbuga z’amateeka lwakubba Mbuzi biri. Kugonza Kamara Henry g’akola mubimuli bya Makerere University asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende nakiriza omusango neyetonda era nasaba ekisonyiwo. Kugonza ategezezza kkooti […]
Amazaalibwa ga Ssabasajja
Enkumi n’enkumi z’abantu batandise owkekulumulala okuva ebule n’ebweya nga boolekera essomero lya Lubiri High school e Buloba okwetaba mu mikolo gy’okukuza amazaalibwa ga ssabasajja ag’emyaka 62. Byo eby’okwerinda bbirigguluggulu okuviira ddala ku Lubiri e Bulange Mengo. Abakungu ba ssabasaaja abenjawulo okuli Katikiro wa Buganda […]