Amawulire

Nsalesale wokuwandiisa amasimu abulako lunaku

Ali Mivule

April 18th, 2017

No comments

Nga ebula olunaku lumu lwokka nsalesale w’okuwandiisa kaadi z’amassimu aggweko, bannayuganda abawerako naddala abali mu byalo baandilekebwa ebbali.

Abakakiiko akalungamya ku byempuliziganya aka UCC kaategeeza nga nsalesale bw’agenda okuggwako nga 20 April anaaba teyewandiisizza essimu yakugibwako.

Omwogezi w’akakiiko kano Fred Otunu teri kwongezaayo nsalesale ono nga era anaaba teyewandiisizza ebyessimu abyerabire.

Mungeri yeemu ekibiina kyabannamateeka wamu n’abamu ku babaka ba palamenti bawakanya enteekateeka eno nga abgamba ennaku 7 ezaawereddwa abantu ntono nyo.