Amawulire
Ekitta bantu e Masaka kitwaliddemu omuyizi w’essomero
Bya Gertrude Mutyaba
Omuyizi wa Seniya esooka akwatiddwa lwakusangibwa nga yoomu kwabo abenyigira mu kusuula ebibaluwa ebyewanisa banna Masaka emitima.
Omukwate (amannya gasirikiddwa) muyizi ku ssomero lya Holy Family Secondary School erisangibwa mu gombolola ye Kyamuliibwa mu district e Kalungu.
Afande Alex Nuwamanya nga yaakulira poliisi ye Kyamuliibwa akakasizza okukwatibwa kw’omuyizi ono wabula naagamba nti bagenda kwongera okumunonyerezaako.
Okukwatibwa kw’omuyizi ono kiddiridde ekibaluwa ekyakoleddwa okulabula nti baakulumba abantu okuli Jane Nabisere, Joan Namazzi, Namutto ku lwomukaaga nga 15 April 2017 okubatta.
Wabula abakulembeze mu lukiiko oluyitiddwa obukubirire bategeezezza nti ebibaluwa bino mulimu n’abebyobufuzi ababiri emabega nga baagala wembule ekomewo ebayambeko ku nsonga eno.
Sentebe we gombolola ye Kyamuliibwa Ernest Munene Kisambu mu lukiiko lwelumu asomye ekibaluwa ekigambibwa okuba nga kyasuulibwa omuyizi ono akwatiddwa.