Amawulire

Abadde abuuka mu baasi emufootodde

Ali Mivule

April 14th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad

Omuntu omu y’afiiriddewo n’abalala 3 nebabuuka n’ebisago ebyamanyi oluvanyuma lw’akabenje akabaddemu emmotoka 3 mu disitulikiti ye Lwengo.

Omugenzi ategerekese nga Willy Bbosa omusaabaze mu baasi ya kampuni ya Bismarkana namba  UAM 813C ebadde eva e Kabale ngedda e Kampala.

Akabenje kano kabadde ku kyalo Malongo ku luguudo oluva e Mbarara okuda e Masaka.

Okusinziira ku beerabiddeko baasi ettomeraganye ne ginaayo eya Gate way ebadde yekanze ki Fuso ekibadde kyetisse amatooke nga kisimbiddwa ku mabbali g’okuluguudo.

Aduumira poliisi y’ebidduka  mu masserengeta ga Uganda  Scovia Birungi akakasizza akabenje kano n’ategeeza nga bwekavudde kuvugisa ekimama.

Agambye nti omugenzi afudde agezaako okubuuka mu baasi nga baasi zombi zivudde ku luguudo nezitomera enyumba ya Muhamad Mugerwa nga muzzukulu we abadde okumpi awo naye alumiziddwa.

Emmotoka zonna zisikiddwa nezitwalibwa ku poliisi ye Kyazanga ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *