Amawulire

Abalunzi e Rakai basattira

Ali Mivule

April 25th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad Abalunzi b’ente mu disitulikiti ye Rakai bassattira olw’ekirwadde ki kattira ekilumba amagana gaabwe. Ebitundu ebisinze okukosebwa biri mu magombolola ge  Kifamba ne  Kakyera nga era okusinziira ku balunzi ente zaabwe zisooka kukwatibwa kamunguuze nezizunga ekiziviirako okufa. Omu ku balunzi abakoseddwa ye Joseph […]

Temunsibaako bayibuli-Dr Stella Nyanzi

Ali Mivule

April 25th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Omukyala ateerya ntama nga ajjukirwa nyo olw’okweyambulamu engoye nga akaayanira ofiisi Dr.Stella Nyanzi yekubidde enduulu mu kkooti ku bakulira amakomera okumugaana okusoma ekitabo kyonna okugyako bayibuli. Nyanzi okwemuluguya bwati abadde alabiseeko mu kkooti ya Buganda Road okumusomera omusango gwokukozesa bubi compyuta nasinziira […]

KCCA FC ne Vipers bakuggwa eggayangano

Ali Mivule

April 25th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Olwaleero kabbinkano kenyini mu liigi y’eggwanga nga abakulembedde aba KCCA FC baabika ne Vipers. Omupiira guno ogusuubirwa okubeerako n’obugombe gwakubeera ku kisaawe kya KCCA ekya Phillip Omondi e Lugogo Oluvanyuma lw’okugwa amaliri ne Sc Villa 1-1 e Masaka, omutendesi wa ttiimu ya […]

Abenguumi bawera

Ali Mivule

April 25th, 2017

No comments

  Bya Ali Mivule Ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde eyingidde enkambi nga basuzibwayo nga beetegekera empaka z’olukalu lwa Africa ezigenda okubeerawo omwezi ogujja . Empaka zino zakubeera mu ggwanga lya Congo Brazzaville okuva nga May 27. Mukiseera kino abazanyi bonna basuzibwa mu kisulo kya  National Council of […]

Munyagwa apondoose nebamuyimbula

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Kyaddaaki  kkooti eyimbudde omubaka we kawempe North Mubarak Munyagwa  nga ono abadde amaze sabiiti 2 namba mu komera , oluvanyuma lwokulemwa okusasula ebbanja lya Bukadde   100 million ezaali zimubanjibwa  John Baptist Maali. wabula wabaddewo katemba ku kkooti nga bakyala ba Munywagwa […]

Nange ndi mu kutya -Omulangira Nakibinge

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Jjjaja w’obuyisiraamu mu ggwanga Al Hajj Nakibinge Kakungulu asabye gavumenti okwongera ku bukuumi bw’ewa bannayuganda. Bino webijidde nga bannayuganda banji bali mu kutya olw’ebibaluwa bi kiro kitwala ounaku ebizze bisuulibwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga bitiisatiisa abantu okubatta. Omulangira ategezezza nga buli […]

Wetondere eggwanga Bugingo-Nsaba Butuuro

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

  Omubaka w’essaza lye Bufumbira nga yaliko minisita w’empisa n’obuntubulamu James Nsaba Buturo asabye Paasita Aloysius Bugingo ow’ekanisa ya  House of Prayer Ministries okwetondera eggwanga olw’okwokya bayibuli. Bangi bazze bakolokota Bugingo oluvanyuma lw’okwokya bayibuli ezimu nga agamba nti zirimu ebikyamu. Kati Nsaba Butuuro agamba yadde […]

KCCA bakyagibanja eza USAFI

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority  ebbanja ly’akatale ka USAFI libasuza bakukunadde nga kati baagala gavumenti ebaweeyo obuwumbi 10 okufunira ddala obwananyini ku katale kano. Bweyabadde alabiseeko eri palamenti , minisita wa Kampala,  Betty  Kamya y’ategezezza nti ku buwumbi 15 obubabanjibwa, gavumenti y’awaddeyo obuwumbi 5 […]

Abadde akwata enswa amasanyalaze gamusse

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

  Bya Malik Fahad Entiisa ebuutikidde abatuuze be  Kiseeka mu disitulikiti ye Lwengo omwana ow’emyaka 10 bwakubiddwa amasanyalaze agamutiddewo. Omugenzi ategerekese nga  Emma Ssali mutabani wa  John Ssali  nga era amasanyalaze gamukubye akwata nswa mu nnimiro . Kitegerekese nti amasanyalaze gano ga muliranwa Jane Namugerwa […]

Abalwanyisa enjala betaaga obuwumbi 15

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

Ofiisi ya ssabaminisita eraze okutya olw’eddibu ery’obuwumbi 15 zebetaaga okugulira abantu emmere mu bitundu ebirimu enjala mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja. Okusinziira ku kiwandiiko ekyasindikiddwa eri palamenti okuva eri  minisita akola guno naguli mu ofiisi ya ssabaminisita Mary Karooro Okurut , minisitule y’ebyensimbi esanye okuddamu okwetegereza […]