Amawulire

Abalwanyisa enjala betaaga obuwumbi 15

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

Ofiisi ya ssabaminisita eraze okutya olw’eddibu ery’obuwumbi 15 zebetaaga okugulira abantu emmere mu bitundu ebirimu enjala mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyasindikiddwa eri palamenti okuva eri  minisita akola guno naguli mu ofiisi ya ssabaminisita Mary Karooro Okurut , minisitule y’ebyensimbi esanye okuddamu okwetegereza obuwumbi 22 zeteeka mu bigwatebiraze kubanga kati enjala yeyongedde mu bantu.

Okusinziira ku ofiisi ya ssabaminisita, mu mwaka gw’ebyensimbi guno gwokka bagabye metric tonnes z’emmere mutwalo mulamba olwo ebirala ebitali mmere nga ebikozesebwa mu bulamu bwabulijjo ebisoba mu 8000.

Minister Karooro agamba enjala yeyongedde okubalukawo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo kale nga kijja kuba kizibu okwanguwa okuddukirira abantu bano singa ensimbi ku njala tezongerwako.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *