Amawulire

Nange ndi mu kutya -Omulangira Nakibinge

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule

Jjjaja w’obuyisiraamu mu ggwanga Al Hajj Nakibinge Kakungulu asabye gavumenti okwongera ku bukuumi bw’ewa bannayuganda.

Bino webijidde nga bannayuganda banji bali mu kutya olw’ebibaluwa bi kiro kitwala ounaku ebizze bisuulibwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga bitiisatiisa abantu okubatta.

Omulangira ategezezza nga buli Muntu kati bwali mu kutya naye nga mwomutwalidde kale nga y’ensonga lwaki atambula n’ebakuumi ssikulwa nga bamumaze emmere.

Omulangira bino abyogeredde ku mukolo gw’okusabira abalangira bonna abazaama wali mu makage e Kibuli mu dduwa ekulembeddwamu supreme Mufti sheikh Sliman Kasule Ndirangwa.

Mufuti mu bubakabwe asabye bonna abalina ebyapa by’obuyisiraamu okubikuuma butiribiri era n’asaba ne gavumenti okuteeka mu nkola ebyazuulwa akakiiko akatekebwawo okunonyeereza ku nkaayana z’obuyisiraamu okusobola  okutebenkeza abaddu ba Allah.

Edduwa eno yetabiddwako bamaseeka abenjawulo neba disitulikiti Khadhi okuva mu bitundu ebitali bimu.