Amawulire

Amazaalibwa ga Ssabasajja

Ali Mivule

April 13th, 2017

No comments

 

Enkumi n’enkumi z’abantu batandise owkekulumulala okuva ebule n’ebweya nga boolekera essomero lya Lubiri High school e  Buloba okwetaba mu mikolo gy’okukuza amazaalibwa ga ssabasajja ag’emyaka 62.

Byo eby’okwerinda bbirigguluggulu okuviira ddala ku Lubiri e Bulange Mengo.

Abakungu ba ssabasaaja abenjawulo okuli Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nebaminisita be nga kwotadde abava mu gavumenti eyawakati basuubirwa ku mukolo guno.

Katikiro agamba obwakabaka buggumira nga namunswa mwali kale nga kyamugaso nyo okukuza amazaalibwa ga beene.

Ssabasajja Kabaka wa Buganda y’azaalibwa mu  April 13, 1955, nga era ye Kabaka owa 36.Sabasajja Muatabani wa ssekabaka Edward Luwangula Muteesa II nga alamudde obuganda okuviira ddala mu July nga 24 1993.