Amawulire
Minisita Kabfunzaki byongedde okumwononekera
Bya Sam Ssebuliba
Nga kyajje akwatibwe ku musango gw’okujja enguzi ey’obukadde 5 ku Munammad Muhammed Hamid owa kampuni ya AYA , minisita omubeezi ow’abakozi byongedde okumwononekera.
Ekitebe ky’eggwanga lya South Korea kuno kiwandikidde omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga banonyeerze ku neyisa ya minisita Herbert Kabafunzaki.
Bano balumiriza minisita okukwata munansi waabwe WOO Junghoon olw’okugaana okumuwa enguzi ya doola 5000 namusindika mu kaduukulu ka CPS okumala essaawa 5.
Kigambibwa okuba nti minisita Kabafunzaki y’alagira abaserikale ba poliisi obutayimbula mukorea ono okutuusa nga asasudde enguzi eno nga era ab’ekitebe kya Korea basooka kubiyingiramu omuntu waabwe okuyimbulwa.