Amawulire

Apollo Kantinti bamugobye mu palamenti

Ali Mivule

April 26th, 2017

No comments

 

Bya Ruth Andera

Munna FDC Apollo Kantinti takyali mubaka wa palamenti.

Kkooti ejulirwamu emugobye mu kifo ky’omubaka wa Kyadondo East lwakujeemera mateeka gabyakulonda.

Abalamuzi abasatu okuli  Richard Buteera, Cheborion Balishaki ne  Paul Mugamba bonna bakkiriziganyizza n’ekyasalibwawo kkooti enkulu nti waliwo n’obululu okuva mu bifo 9 obutaabalibwa ga abantu nga 5000 bafiirwa olukisa lw’okwelondera omubaka waabwe.

Kati kkooti eno eragidde akakiiko k’ebyokulonda kaddemu okutegeka okulonda okulala .

Munna NRM   Sitenda Sebalu y’addukira mu kkooti enkulu nga awakanya ebyava mu kulonda Kantinti nebamugobayo naye n’addukira mu kkooti ejulirwamu nayo n’emugoba .

Kati Kantinti n’akakiiko k’ebyokulonda balagiddwa okusasula ssente zonna Sebalu z’asasanyizza ku musango guno ku kkooti enkulu n’ejulirwamu.