Amawulire

Ba ssedduvutu babakutte

Ali Mivule

May 4th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi ye Jinja eriko abantu 2 bekutte ku bigambibwa nti baasobezza ku bawala abatanetuuka.

Abakwate bategerekese nga  Waiswa Ivan myaka 19 omutuuze wa zooni ye Mafubira  ne  Fred Kyalukundo 18 omutuuze ku kyalo – Kyamagwa .

Atwala poliisi ye Mafubira  James Muwanga agamba bano bavunaanibwa kwefuula magunju makadde agalya enseera  nebasobya ku bawala omu wa myaka 8 omulala wa 14.

Afande Muwanga agamba  ebbaluwa y’omusawo eraga nti ddala abaana bano baasobezebwako nga okunonyereza kukyagenda  mu maaso.