Amawulire

Zaala bamugobye mu byalo

Ali Mivule

May 5th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Ab’olukiiko olutwala okuzanya zaala mu ggwanga balabudde nti teri kutwala byuma bya zaala mu byalo.

Akulira olukiiko luno  Edgar Agaba agamba zaala alina kubeera mu bibuga mwokka bannakyalo babaleke.

Ono kati agamba okutandika n’olwaleero baakuggala buzineesi za zaala zonna ezimenya amateeka.

Agaba ategezezza nti ebibanda bingi bikkiriza abaana abato okuzanya zaala, ebimu tebirina layisinsi nebisanyizo ebirala ebitatuukirizibwa kale nga lwankya bakubaggala.

Agamba baawadde akakiiko k’ebyempuliziganya olukusa okuggala n’emitaimbagano gya betting egisoba mu 500 egibadde gikola nga tegirina layisinsi.

Agamba baagala kulaba nga wabeerawo okulungamya omuzanyo gwa zaala.