Amawulire

Abajaasi Babasibye Emyaka 15 Lwa Bulumbaganyi Obwalie Mbuya

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Kooti yamagye etuula e Makindye, abajaasi be gye lye gwanga erya UPDF babiri ebasibye buli omu emyaka 15 olwokwekobaana mu bulumbaganyi  obwakolebwa ku nkambi yamagye etuula e Mbuya  obwaliwo ngennaku zomwezi 4th  March mu mwaka gwa 2013.

Abalamuzi ba kooti eno 7 ngekubirizibwa Lt Gen. Andrew Gutti  olunnaku olwe gguno abavunanwa babasingisizza emisango egyekuusa ku kutataganye ebyokwerinda.

Okusinziira ku nnamula ya kooti esomeddwa Lt. Gen  Gutti, abalamuzi 7 bonna awatali kwesalamu nga basinziira ku bujulizi obuzze buletebwa Lt. Augustine Moro ne munne Private. Kenneth Kalokwera bategeka obulumbaganyi buno nga bugenderevu.

Oludda oluwaabi olukulembeddwamu Maj. Rapheal Mugisha lubadde lulumiriza nti abajaasi bano bakwatibwa ku nkambi wenyini oluvanyuma lwobulumbaganyi ne mmundu ezaali zimaze okuwandagaza amasasi, nga buno bwa bujulizi obumala obumazi.

Bwabadde abawa ekibonerezo ekye myaka 15 Lt. Gen. Gutti abajiddeko emyaka 5 gyebamaze ku alimanda kubanga enneyisa yabwe ebadde nnungi.

Wano era ategezezza nti balina omukisa okuddukira mu kooti ejjulirwamu eya waggulu.