Amawulire

Ab’ekyambogo babanja

Ali Mivule

May 5th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Abasomesa ku yunivasite ye Kyambogo batiisizza okwekalakaasa oluvanyuma lw’okumala emyezi 4 nga tebakomba ku musaala.

Abasomesa bano yunivasite bajiwadde obutasukka lwaleero nga ssente zaabwe ziri ku akawunta oba sikkyo bediime.

Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa ku ttendekero lino Dr. Grace Lubaale agamba bakooye okukolera obwerere nga bbo abasomesa abatali bankalakalira abasoba mu 800 babanja akawumba akasukka mu kalamba mu misaala gyemabega.

Wabula amyuka ssenkulu wa yunivasite eno Prof Elly Katunguka agamba enosnga zonna bazikolako yadde wabaddewo ebizibu ebiteebereka.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *